Check out the new design

ಪವಿತ್ರ ಕುರ್‌ಆನ್ ಅರ್ಥಾನುವಾದ - ಲುಗಾಂಡ ಅನುವಾದ - ಆಫ್ರಿಕನ್ ಡೆವಲಪ್‌ಮೆಂಟ್ ಫೌಂಡೇಶನ್ * - ಅನುವಾದಗಳ ವಿಷಯಸೂಚಿ


ಅರ್ಥಗಳ ಅನುವಾದ ಅಧ್ಯಾಯ: ಅಲ್- ಹಜ್ಜ್   ಶ್ಲೋಕ:
أَلَمۡ تَرَ أَنَّ ٱللَّهَ سَخَّرَ لَكُم مَّا فِي ٱلۡأَرۡضِ وَٱلۡفُلۡكَ تَجۡرِي فِي ٱلۡبَحۡرِ بِأَمۡرِهِۦ وَيُمۡسِكُ ٱلسَّمَآءَ أَن تَقَعَ عَلَى ٱلۡأَرۡضِ إِلَّا بِإِذۡنِهِۦٓۚ إِنَّ ٱللَّهَ بِٱلنَّاسِ لَرَءُوفٞ رَّحِيمٞ
65 . Abaffe tolaba nti mazima Katonda yabagondeza ebyo ebiri mu nsi, n'abagondeza n'amaato agaseeyeeya ku nnyanja olw'ekiragirokye era awanirira eggulu obutagwa ku nsi mpozzi nga ayagadde, mazima Katonda mukwata mpola musaasizi nnyo eri abantu.
ಅರಬ್ಬಿ ವ್ಯಾಖ್ಯಾನಗಳು:
وَهُوَ ٱلَّذِيٓ أَحۡيَاكُمۡ ثُمَّ يُمِيتُكُمۡ ثُمَّ يُحۡيِيكُمۡۗ إِنَّ ٱلۡإِنسَٰنَ لَكَفُورٞ
66 . Yye yooyo abawa obulamu oluvanyuma n'abatta n'oluvanyuma alibawa obulamu mazima omuntu mwewakanyi (wa byengera).
ಅರಬ್ಬಿ ವ್ಯಾಖ್ಯಾನಗಳು:
لِّكُلِّ أُمَّةٖ جَعَلۡنَا مَنسَكًا هُمۡ نَاسِكُوهُۖ فَلَا يُنَٰزِعُنَّكَ فِي ٱلۡأَمۡرِۚ وَٱدۡعُ إِلَىٰ رَبِّكَۖ إِنَّكَ لَعَلَىٰ هُدٗى مُّسۡتَقِيمٖ
67 . Buli bantu twabawa emikolo (egy'okusinza) bo gye bakola n'olwekyo (abakaafiiri) tebasaanye ku kuwakanya ku kintu kyonna, era koowoola abantu okudda ewa Mukama omulabiriziwo (okusinziira ku bye twogedde) mazima ggwe oli ku bulungamu obulambulukufu.
ಅರಬ್ಬಿ ವ್ಯಾಖ್ಯಾನಗಳು:
وَإِن جَٰدَلُوكَ فَقُلِ ٱللَّهُ أَعۡلَمُ بِمَا تَعۡمَلُونَ
68 . Bwe bakuwakanya gamba nti Katonda y'asinga okumanya ebyo bye mukola.
ಅರಬ್ಬಿ ವ್ಯಾಖ್ಯಾನಗಳು:
ٱللَّهُ يَحۡكُمُ بَيۡنَكُمۡ يَوۡمَ ٱلۡقِيَٰمَةِ فِيمَا كُنتُمۡ فِيهِ تَخۡتَلِفُونَ
69 . Katonda agenda kusalawo wakati wa mmwe ku lunaku lw'enkomerero ku ebyo bye mwalinga mwawukanamu.
ಅರಬ್ಬಿ ವ್ಯಾಖ್ಯಾನಗಳು:
أَلَمۡ تَعۡلَمۡ أَنَّ ٱللَّهَ يَعۡلَمُ مَا فِي ٱلسَّمَآءِ وَٱلۡأَرۡضِۚ إِنَّ ذَٰلِكَ فِي كِتَٰبٍۚ إِنَّ ذَٰلِكَ عَلَى ٱللَّهِ يَسِيرٞ
70 . Abaffe tomanyi nti mazima Katonda amanyi ebiri mu ggulu ne mu nsi mazima ekyo kiri mu kitabo (kiwandiike okuva edda) mazima ekyo kyangu nnyo ku Katonda.
ಅರಬ್ಬಿ ವ್ಯಾಖ್ಯಾನಗಳು:
وَيَعۡبُدُونَ مِن دُونِ ٱللَّهِ مَا لَمۡ يُنَزِّلۡ بِهِۦ سُلۡطَٰنٗا وَمَا لَيۡسَ لَهُم بِهِۦ عِلۡمٞۗ وَمَا لِلظَّٰلِمِينَ مِن نَّصِيرٖ
71 . Basinza ebitali Katonda byatassangako bujulizi bwonna, era bye batalinaako kumanya kwonna, bulijjo abeeyisa obubi tebaba na mutaasa.
ಅರಬ್ಬಿ ವ್ಯಾಖ್ಯಾನಗಳು:
وَإِذَا تُتۡلَىٰ عَلَيۡهِمۡ ءَايَٰتُنَا بَيِّنَٰتٖ تَعۡرِفُ فِي وُجُوهِ ٱلَّذِينَ كَفَرُواْ ٱلۡمُنكَرَۖ يَكَادُونَ يَسۡطُونَ بِٱلَّذِينَ يَتۡلُونَ عَلَيۡهِمۡ ءَايَٰتِنَاۗ قُلۡ أَفَأُنَبِّئُكُم بِشَرّٖ مِّن ذَٰلِكُمُۚ ٱلنَّارُ وَعَدَهَا ٱللَّهُ ٱلَّذِينَ كَفَرُواْۖ وَبِئۡسَ ٱلۡمَصِيرُ
72 . Ebigambo byaffe bwe bibasomerwa nga binnyonnyofu olaba mu byenyi by'abo abaakaafuwala ekifaananyi ekitali kirungi, kumpi babuukire abo ababasomera ebigambo byaffe, bagambe nti abaffe mbabuulire ekibi okusinga abo, gwe muliro Katonda gwe yalagaanyisa abo abaakaafuwala era buddo obusinga okuba obubi.
ಅರಬ್ಬಿ ವ್ಯಾಖ್ಯಾನಗಳು:
 
ಅರ್ಥಗಳ ಅನುವಾದ ಅಧ್ಯಾಯ: ಅಲ್- ಹಜ್ಜ್
ಅಧ್ಯಾಯಗಳ ವಿಷಯಸೂಚಿ ಪುಟ ಸಂಖ್ಯೆ
 
ಪವಿತ್ರ ಕುರ್‌ಆನ್ ಅರ್ಥಾನುವಾದ - ಲುಗಾಂಡ ಅನುವಾದ - ಆಫ್ರಿಕನ್ ಡೆವಲಪ್‌ಮೆಂಟ್ ಫೌಂಡೇಶನ್ - ಅನುವಾದಗಳ ವಿಷಯಸೂಚಿ

ಆಫ್ರಿಕನ್ ಡೆವಲಪ್‌ಮೆಂಟ್ ಫೌಂಡೇಶನ್ ನಿಂದ ಪ್ರಕಾಶಿತ

ಮುಚ್ಚಿ