पवित्र कुरअानको अर्थको अनुवाद - लुगान्डा अनुवाद : अफ्रिकी विकास फाउन्डेशन । * - अनुवादहरूको सूची


अर्थको अनुवाद सूरः: सूरतु यासीन   श्लोक:

Yaasin

يسٓ
1 . Yaasin.
अरबी व्याख्याहरू:
وَٱلۡقُرۡءَانِ ٱلۡحَكِيمِ
2 . Ndayidde Kur’ani (eno) ejjudde ebigambo eby'amagezi.
अरबी व्याख्याहरू:
إِنَّكَ لَمِنَ ٱلۡمُرۡسَلِينَ
3 . Mazima ggwe (Muhammad) oli wa mu babaka.
अरबी व्याख्याहरू:
عَلَىٰ صِرَٰطٖ مُّسۡتَقِيمٖ
4 . (Nga oli) ku kkubo eggolokofu.
अरबी व्याख्याहरू:
تَنزِيلَ ٱلۡعَزِيزِ ٱلرَّحِيمِ
5 . (Kur’ani eno) yassibwa nantakubwa ku mukono omusaasizi.
अरबी व्याख्याहरू:
لِتُنذِرَ قَوۡمٗا مَّآ أُنذِرَ ءَابَآؤُهُمۡ فَهُمۡ غَٰفِلُونَ
6 . Obe nga otiisa abantu bakadde baabwe abataatiisibwa olwo nno nebaba abeesuulirayo ogwa naggamba (ku bikwata ku Katonda).
अरबी व्याख्याहरू:
لَقَدۡ حَقَّ ٱلۡقَوۡلُ عَلَىٰٓ أَكۡثَرِهِمۡ فَهُمۡ لَا يُؤۡمِنُونَ
7 . Mazima kikakase ekigambo (eky'okubonerezebwa) ku basinga obungi mu bo nebaba nga tebagenda kukkiriza.
अरबी व्याख्याहरू:
إِنَّا جَعَلۡنَا فِيٓ أَعۡنَٰقِهِمۡ أَغۡلَٰلٗا فَهِيَ إِلَى ٱلۡأَذۡقَانِ فَهُم مُّقۡمَحُونَ
8 . Mazima ffe twassa mu nsingo zaabwe enkoligo nga nazo zituukira ddala ku bulevu, olwo nno nebaba nga balalambadde.
अरबी व्याख्याहरू:
وَجَعَلۡنَا مِنۢ بَيۡنِ أَيۡدِيهِمۡ سَدّٗا وَمِنۡ خَلۡفِهِمۡ سَدّٗا فَأَغۡشَيۡنَٰهُمۡ فَهُمۡ لَا يُبۡصِرُونَ
9 . Netussa mu maaso gaabwe ekiziyiza netussa n'ekiziyiza (ekirala) emabega waabwe, olwo nno netubabikka nga bo tebayinza kulaba.
अरबी व्याख्याहरू:
وَسَوَآءٌ عَلَيۡهِمۡ ءَأَنذَرۡتَهُمۡ أَمۡ لَمۡ تُنذِرۡهُمۡ لَا يُؤۡمِنُونَ
10 . Era kyekimu ku bo obatiisizza oba tobatiisizza si baakukkiriza.
अरबी व्याख्याहरू:
إِنَّمَا تُنذِرُ مَنِ ٱتَّبَعَ ٱلذِّكۡرَ وَخَشِيَ ٱلرَّحۡمَٰنَ بِٱلۡغَيۡبِۖ فَبَشِّرۡهُ بِمَغۡفِرَةٖ وَأَجۡرٖ كَرِيمٍ
11 . Mazima otiisa oyo agoberera okubuulirira era n'atya (Katonda) omusaasizi ennyo awamu n'okuba nga talabika kale nno musanyuse n'amawulire g’ekisonyiwo n'empeera eyeesiimisa.
अरबी व्याख्याहरू:
إِنَّا نَحۡنُ نُحۡيِ ٱلۡمَوۡتَىٰ وَنَكۡتُبُ مَا قَدَّمُواْ وَءَاثَٰرَهُمۡۚ وَكُلَّ شَيۡءٍ أَحۡصَيۡنَٰهُ فِيٓ إِمَامٖ مُّبِينٖ
12 . Mazima ffe tuliramusa abafu era tuwandiika ebyo bye baakulembeza ne bye baagoberezaako nga na buli kintu twakikomeka mu kitabo e kikulu e kigenda okulaga buli kimu.
अरबी व्याख्याहरू:
وَٱضۡرِبۡ لَهُم مَّثَلًا أَصۡحَٰبَ ٱلۡقَرۡيَةِ إِذۡ جَآءَهَا ٱلۡمُرۡسَلُونَ
13 . Bakubire ekifaanayi ky'abantu bo mu kitundu ekimu bwe bajjirwa ababaka.
अरबी व्याख्याहरू:
إِذۡ أَرۡسَلۡنَآ إِلَيۡهِمُ ٱثۡنَيۡنِ فَكَذَّبُوهُمَا فَعَزَّزۡنَا بِثَالِثٖ فَقَالُوٓاْ إِنَّآ إِلَيۡكُم مُّرۡسَلُونَ
14 . Mu kiseera bwe twatumira gye bali ababaka babiri ne babalimbisa, olwo nno netubongera amaanyi n’owokusatu (bonsatule) nebagamba nti mazima ffe tutumiddwa gye muli.
अरबी व्याख्याहरू:
قَالُواْ مَآ أَنتُمۡ إِلَّا بَشَرٞ مِّثۡلُنَا وَمَآ أَنزَلَ ٱلرَّحۡمَٰنُ مِن شَيۡءٍ إِنۡ أَنتُمۡ إِلَّا تَكۡذِبُونَ
15 . (Abo mu kitundu ekyo) ne bagamba nti: mmwe temuli okugyako (okuba) bantu bannaffe era Katonda omusaasizi ennyo tassanga kintu kyonna temuli mmwe okugyako okuba nga mulimba (bulimbi).
अरबी व्याख्याहरू:
قَالُواْ رَبُّنَا يَعۡلَمُ إِنَّآ إِلَيۡكُمۡ لَمُرۡسَلُونَ
16 . (Ababaka) nebagamba nti Mukama omulabirizi waffe omanyi nti mazima ddala ffe tutumiddwa gye muli.
अरबी व्याख्याहरू:
وَمَا عَلَيۡنَآ إِلَّا ٱلۡبَلَٰغُ ٱلۡمُبِينُ
17 . Era tetuvunaanyizibwa okugyako okutuusa obubaka mu bunnyonnyofu.
अरबी व्याख्याहरू:
قَالُوٓاْ إِنَّا تَطَيَّرۡنَا بِكُمۡۖ لَئِن لَّمۡ تَنتَهُواْ لَنَرۡجُمَنَّكُمۡ وَلَيَمَسَّنَّكُم مِّنَّا عَذَابٌ أَلِيمٞ
18 . (Abo mu kitundu) nebagamba nti mazima ffe tutya okutuukibwako obuzibu ku lwa mmwe, bwe muteekomeko tujja kubakasukira amayinja era ebibonerezo ebiruma ennyo bijja kubatuukako nga biva gye tuli.
अरबी व्याख्याहरू:
قَالُواْ طَٰٓئِرُكُم مَّعَكُمۡ أَئِن ذُكِّرۡتُمۚ بَلۡ أَنتُمۡ قَوۡمٞ مُّسۡرِفُونَ
19 . (Ababaka) ne bagamba nti okutya kwa mmwe okutuukibwako obuzibu mwe mukyereetedde (bwe mugaanye okuwuliriza obubaka bwe muleeteddwa) wabula mmwe muli bantu abayitirivu mu kwonoona.
अरबी व्याख्याहरू:
وَجَآءَ مِنۡ أَقۡصَا ٱلۡمَدِينَةِ رَجُلٞ يَسۡعَىٰ قَالَ يَٰقَوۡمِ ٱتَّبِعُواْ ٱلۡمُرۡسَلِينَ
20 . olwo nno omusajja najja nga ava ku nkomerero y’ekibuga nga ayanguwa naagamba nti: abange bantu bange mugoberere ababaka.
अरबी व्याख्याहरू:
ٱتَّبِعُواْ مَن لَّا يَسۡـَٔلُكُمۡ أَجۡرٗا وَهُم مُّهۡتَدُونَ
21 . Mugoberere abo abatabasaba mpeera ate nga bo balungamu.
अरबी व्याख्याहरू:
وَمَالِيَ لَآ أَعۡبُدُ ٱلَّذِي فَطَرَنِي وَإِلَيۡهِ تُرۡجَعُونَ
22 . Nina ki okuba nti sisinza oyo eyantonda, ate nga gyali gye mulizzibwa!.
अरबी व्याख्याहरू:
ءَأَتَّخِذُ مِن دُونِهِۦٓ ءَالِهَةً إِن يُرِدۡنِ ٱلرَّحۡمَٰنُ بِضُرّٖ لَّا تُغۡنِ عَنِّي شَفَٰعَتُهُمۡ شَيۡـٔٗا وَلَا يُنقِذُونِ
23 . Ndeke Katonda neeteerewo ebisinzibwa ebirala, so nga singa Katonda omusaasizi ennyo anjagaliza akabi okuwolereza kwabyo tekwandingasizza kintu kyonna era tebiyinza kunziruukirira.
अरबी व्याख्याहरू:
إِنِّيٓ إِذٗا لَّفِي ضَلَٰلٖ مُّبِينٍ
24 . (Singa nkikola) mazima nze olwo njakuba mu bubuze obweyolefu.
अरबी व्याख्याहरू:
إِنِّيٓ ءَامَنتُ بِرَبِّكُمۡ فَٱسۡمَعُونِ
25 . Mazima nze nzikiriza Mukama omulabirizi wa mmwe kale mumpulirize.
अरबी व्याख्याहरू:
قِيلَ ٱدۡخُلِ ٱلۡجَنَّةَۖ قَالَ يَٰلَيۡتَ قَوۡمِي يَعۡلَمُونَ
26 . Naagambibwa (nga amaze okufa) nti yingira e jjana, naagamba nti kale singa abantu bange bamanyi.
अरबी व्याख्याहरू:
بِمَا غَفَرَ لِي رَبِّي وَجَعَلَنِي مِنَ ٱلۡمُكۡرَمِينَ
27 . Ekyo Mukama omulabirizi wange kyansonyiyidde era nanteeka mwabo abagabulwa (olwaleero).
अरबी व्याख्याहरू:
۞ وَمَآ أَنزَلۡنَا عَلَىٰ قَوۡمِهِۦ مِنۢ بَعۡدِهِۦ مِن جُندٖ مِّنَ ٱلسَّمَآءِ وَمَا كُنَّا مُنزِلِينَ
28 . Era tetwassa ku bantu be oluvanyuma lwe ggye lyonna liva mu gggulu (olw'okubazikiriza) era tetwali baakulissa.
अरबी व्याख्याहरू:
إِن كَانَتۡ إِلَّا صَيۡحَةٗ وَٰحِدَةٗ فَإِذَا هُمۡ خَٰمِدُونَ
29 . (Wabula okuzikirira kwabwe) tekwali okugyako lwali olubwatuka lumu, okugenda okulaba nga bo bakalu.
अरबी व्याख्याहरू:
يَٰحَسۡرَةً عَلَى ٱلۡعِبَادِۚ مَا يَأۡتِيهِم مِّن رَّسُولٍ إِلَّا كَانُواْ بِهِۦ يَسۡتَهۡزِءُونَ
30 . Kya nnaku nnyo, ku baddu (abantu) tewali mubaka abajjira okugyako bamujeeja.
अरबी व्याख्याहरू:
أَلَمۡ يَرَوۡاْ كَمۡ أَهۡلَكۡنَا قَبۡلَهُم مِّنَ ٱلۡقُرُونِ أَنَّهُمۡ إِلَيۡهِمۡ لَا يَرۡجِعُونَ
31 . Abaffe tebalaba nti emirembe emeka gyetwazikiriza oluberyeberye lwabwe, nga mazima ddala bo tebagenda kudda gye bali.
अरबी व्याख्याहरू:
وَإِن كُلّٞ لَّمَّا جَمِيعٞ لَّدَيۡنَا مُحۡضَرُونَ
32 . Tewali nagumu ku gyonna (emirembe) okugyako nga bonna ba kuleetebwa mu maaso gaffe.
अरबी व्याख्याहरू:
وَءَايَةٞ لَّهُمُ ٱلۡأَرۡضُ ٱلۡمَيۡتَةُ أَحۡيَيۡنَٰهَا وَأَخۡرَجۡنَا مِنۡهَا حَبّٗا فَمِنۡهُ يَأۡكُلُونَ
33 . Ensi efudde (ekaze) kabonero gye bali, tugiwa obulamu (tutonnyesa nkuba) era netumeza mu yo empeke, okwo nno kwe balya.
अरबी व्याख्याहरू:
وَجَعَلۡنَا فِيهَا جَنَّٰتٖ مِّن نَّخِيلٖ وَأَعۡنَٰبٖ وَفَجَّرۡنَا فِيهَا مِنَ ٱلۡعُيُونِ
34 . Netuteeka mu yo amalimiro ag’entende n'e Mizabibu era netufukula mu yo ensulo.
अरबी व्याख्याहरू:
لِيَأۡكُلُواْ مِن ثَمَرِهِۦ وَمَا عَمِلَتۡهُ أَيۡدِيهِمۡۚ أَفَلَا يَشۡكُرُونَ
35 . Babe nga balya ku bibala byayo ne Ku ebyo emikono gyabwe bye gikola, abaffe tebeebaza!.
अरबी व्याख्याहरू:
سُبۡحَٰنَ ٱلَّذِي خَلَقَ ٱلۡأَزۡوَٰجَ كُلَّهَا مِمَّا تُنۢبِتُ ٱلۡأَرۡضُ وَمِنۡ أَنفُسِهِمۡ وَمِمَّا لَا يَعۡلَمُونَ
36 . Musukkulumu oyo eyatonda ebimera mu nsi ne mubo bennyini (abantu) ne bye batamanyi, nga byonna biba ekisajja n'ekikazi.
अरबी व्याख्याहरू:
وَءَايَةٞ لَّهُمُ ٱلَّيۡلُ نَسۡلَخُ مِنۡهُ ٱلنَّهَارَ فَإِذَا هُم مُّظۡلِمُونَ
37 . Era ekiro kabonero gye bali anti tukijjako obudde obw'emisana ogenda okulaba nga bali mu nzikiza.
अरबी व्याख्याहरू:
وَٱلشَّمۡسُ تَجۡرِي لِمُسۡتَقَرّٖ لَّهَاۚ ذَٰلِكَ تَقۡدِيرُ ٱلۡعَزِيزِ ٱلۡعَلِيمِ
38 . Ne njuba etambulira ku biragiro ebyagiweebwa, okwo kwe kugera kwa (Katonda) nantakubwa ku mukono amanyi ennyo.
अरबी व्याख्याहरू:
وَٱلۡقَمَرَ قَدَّرۡنَٰهُ مَنَازِلَ حَتَّىٰ عَادَ كَٱلۡعُرۡجُونِ ٱلۡقَدِيمِ
39 . Nga n'omwezi (kabonero gye bali), twagugerera ebifo (mwe gutambulira) okutuusa lwe guddayo neguba nga ekikolokomba ekikadde.
अरबी व्याख्याहरू:
لَا ٱلشَّمۡسُ يَنۢبَغِي لَهَآ أَن تُدۡرِكَ ٱلۡقَمَرَ وَلَا ٱلَّيۡلُ سَابِقُ ٱلنَّهَارِۚ وَكُلّٞ فِي فَلَكٖ يَسۡبَحُونَ
40 . Tekisoboka enjuba kusisinkana mwezi era n'ekiro tekigenda kukulembera misana na buli kimu ku byombi kiri mu bbanga kiwuga.
अरबी व्याख्याहरू:
وَءَايَةٞ لَّهُمۡ أَنَّا حَمَلۡنَا ذُرِّيَّتَهُمۡ فِي ٱلۡفُلۡكِ ٱلۡمَشۡحُونِ
41 . Era kabonero gye bali (abantu), mazima ffe twatambuliza bannaabwe mu maato agakubyeko.
अरबी व्याख्याहरू:
وَخَلَقۡنَا لَهُم مِّن مِّثۡلِهِۦ مَا يَرۡكَبُونَ
42 . Era tubatondera agalinga go gebasaabaliramu.
अरबी व्याख्याहरू:
وَإِن نَّشَأۡ نُغۡرِقۡهُمۡ فَلَا صَرِيخَ لَهُمۡ وَلَا هُمۡ يُنقَذُونَ
43 . Singa twagadde tuyinza okubazikiriza ne batasobola kwekubira nduulu, era nga tebayinza kuddukirirwa.
अरबी व्याख्याहरू:
إِلَّا رَحۡمَةٗ مِّنَّا وَمَتَٰعًا إِلَىٰ حِينٖ
44 . (Tewali kibaawo) okugyako okusaasira okuva gye tuli ne ku lw'okubeeyagaza okumala ekiseera ekigere.
अरबी व्याख्याहरू:
وَإِذَا قِيلَ لَهُمُ ٱتَّقُواْ مَا بَيۡنَ أَيۡدِيكُمۡ وَمَا خَلۡفَكُمۡ لَعَلَّكُمۡ تُرۡحَمُونَ
45 . Bwe baba bagambiddwa nti mutye ebyo ebiri mu maaso ga mmwe n'ebyo ebiri emabega wa mmwe, olwo nno mube nga musaasirwa (beesuulirayo gwa naggamba).
अरबी व्याख्याहरू:
وَمَا تَأۡتِيهِم مِّنۡ ءَايَةٖ مِّنۡ ءَايَٰتِ رَبِّهِمۡ إِلَّا كَانُواْ عَنۡهَا مُعۡرِضِينَ
46 . Anti tewali kabonero mu bubonero bwa Mukama omulabirizi waabwe kaabajjira okugyako nga baakaawukanako.
अरबी व्याख्याहरू:
وَإِذَا قِيلَ لَهُمۡ أَنفِقُواْ مِمَّا رَزَقَكُمُ ٱللَّهُ قَالَ ٱلَّذِينَ كَفَرُواْ لِلَّذِينَ ءَامَنُوٓاْ أَنُطۡعِمُ مَن لَّوۡ يَشَآءُ ٱللَّهُ أَطۡعَمَهُۥٓ إِنۡ أَنتُمۡ إِلَّا فِي ضَلَٰلٖ مُّبِينٖ
47 . Era bwe baba bagambiddwa nti mugabe ku ebyo Katonda bye yabawa abo abaakaafuwala bagamba abo abakkiriza nti abaffe tuliise oyo singa Katonda yayagala yaali muliisizza, temuli mmwe okugyako okuba mu bubuze obw'olwatu.
अरबी व्याख्याहरू:
وَيَقُولُونَ مَتَىٰ هَٰذَا ٱلۡوَعۡدُ إِن كُنتُمۡ صَٰدِقِينَ
48 . Era bagamba nti endagaano eyo eribaawo ddi bwe muba nga mwogera mazima.
अरबी व्याख्याहरू:
مَا يَنظُرُونَ إِلَّا صَيۡحَةٗ وَٰحِدَةٗ تَأۡخُذُهُمۡ وَهُمۡ يَخِصِّمُونَ
49 . Tebalinda okugyako olubwatuka lumu olulibakwata nga nabo bali mu kukaayana.
अरबी व्याख्याहरू:
فَلَا يَسۡتَطِيعُونَ تَوۡصِيَةٗ وَلَآ إِلَىٰٓ أَهۡلِهِمۡ يَرۡجِعُونَ
50 . Olwo nno tebagenda kulaama wadde okudda eri abantu baabwe (eka).
अरबी व्याख्याहरू:
وَنُفِخَ فِي ٱلصُّورِ فَإِذَا هُم مِّنَ ٱلۡأَجۡدَاثِ إِلَىٰ رَبِّهِمۡ يَنسِلُونَ
51 . Olwo engombe erifuuyibwa (olufuuwa olw'okubiri) oligenda okubalaba nga bava mu ntaana zaabwe nga bagenda eri Mukama omulabirizi waabwe nga baanguwa byansusso.
अरबी व्याख्याहरू:
قَالُواْ يَٰوَيۡلَنَا مَنۢ بَعَثَنَا مِن مَّرۡقَدِنَاۜۗ هَٰذَا مَا وَعَدَ ٱلرَّحۡمَٰنُ وَصَدَقَ ٱلۡمُرۡسَلُونَ
52 . Balyoke bagambe (nga bakuba ebiwoobe) nti nga tuzikiridde ani atuzuukizza okutujja gye tubadde twebase (mu ntaana zaffe bagenda kwanukulwa nti) ekyo kyekyo Katonda Omusaasizi ennyo kye yalagaanyisa n'ababaka baayogera mazima.
अरबी व्याख्याहरू:
إِن كَانَتۡ إِلَّا صَيۡحَةٗ وَٰحِدَةٗ فَإِذَا هُمۡ جَمِيعٞ لَّدَيۡنَا مُحۡضَرُونَ
53 . (Okubazuukiza) tekugenda kuba okugyako olubwatuka lumu, olwo nno bonna gye tuli gye bagenda okuleetebwa.
अरबी व्याख्याहरू:
فَٱلۡيَوۡمَ لَا تُظۡلَمُ نَفۡسٞ شَيۡـٔٗا وَلَا تُجۡزَوۡنَ إِلَّا مَا كُنتُمۡ تَعۡمَلُونَ
54 . Olwa leero tewali muntu agenda kuyisibwa bubi mu kintu kyonna era temugenda kusasulwa okugyako ebyo bye mwali mukola.
अरबी व्याख्याहरू:
إِنَّ أَصۡحَٰبَ ٱلۡجَنَّةِ ٱلۡيَوۡمَ فِي شُغُلٖ فَٰكِهُونَ
55 . Mazima abantu b'omu jjana ku lunaku olwo balibeera mu kwetala olw'amasanyu gebalibeeramu.
अरबी व्याख्याहरू:
هُمۡ وَأَزۡوَٰجُهُمۡ فِي ظِلَٰلٍ عَلَى ٱلۡأَرَآئِكِ مُتَّكِـُٔونَ
56 . Bo n'abo be baafumbiriganwa nabo bagenda kubeera mu bisiikirize nga beesigamye ebitanda ebiwunde.
अरबी व्याख्याहरू:
لَهُمۡ فِيهَا فَٰكِهَةٞ وَلَهُم مَّا يَدَّعُونَ
57 . Balina mu yo buli kika kya bibala era bagenda kufuna buli kye baliba basabye.
अरबी व्याख्याहरू:
سَلَٰمٞ قَوۡلٗا مِّن رَّبّٖ رَّحِيمٖ
58 . (Bagenda kufuna ekyengera ekisinga ebyo) nakyo salaamu nga kigambo ekiriva ewa Mukama omulabirizi waabwe ow'ekisa ekingi.
अरबी व्याख्याहरू:
وَٱمۡتَٰزُواْ ٱلۡيَوۡمَ أَيُّهَا ٱلۡمُجۡرِمُونَ
59 . Naye bo aboonoonyi bagenda kugambibwa nti: abange mmwe aboonoonyi olwa leero mweyawule (ku bakkiriza).
अरबी व्याख्याहरू:
۞ أَلَمۡ أَعۡهَدۡ إِلَيۡكُمۡ يَٰبَنِيٓ ءَادَمَ أَن لَّا تَعۡبُدُواْ ٱلشَّيۡطَٰنَۖ إِنَّهُۥ لَكُمۡ عَدُوّٞ مُّبِينٞ
60 . Abange mmwe ezadde lya Adam abaffe ssaabakozesa endagaano nti: temusinzanga Sitane olw'okuba yye mulabe wa mmwe omweyolefu!.
अरबी व्याख्याहरू:
وَأَنِ ٱعۡبُدُونِيۚ هَٰذَا صِرَٰطٞ مُّسۡتَقِيمٞ
61 . Era (ne mbakalaatira) nti: munsinze, eryo lye kkubo ettuufu.
अरबी व्याख्याहरू:
وَلَقَدۡ أَضَلَّ مِنكُمۡ جِبِلّٗا كَثِيرًاۖ أَفَلَمۡ تَكُونُواْ تَعۡقِلُونَ
62 . Mazima (sitane) yabuza mu mmwe ebitonde bingi nnyo, abaffe mwali temutegeera.
अरबी व्याख्याहरू:
هَٰذِهِۦ جَهَنَّمُ ٱلَّتِي كُنتُمۡ تُوعَدُونَ
63 . Guno nno gwe muliro Jahannama gwe mwalagaanyisibwanga (ku nsi).
अरबी व्याख्याहरू:
ٱصۡلَوۡهَا ٱلۡيَوۡمَ بِمَا كُنتُمۡ تَكۡفُرُونَ
64 . Muguyingire olwa leero olw'ebyo bye mwalinga muwakanya.
अरबी व्याख्याहरू:
ٱلۡيَوۡمَ نَخۡتِمُ عَلَىٰٓ أَفۡوَٰهِهِمۡ وَتُكَلِّمُنَآ أَيۡدِيهِمۡ وَتَشۡهَدُ أَرۡجُلُهُم بِمَا كَانُواْ يَكۡسِبُونَ
65 . Olwa leero tujja kuteeka envumbo ku mimwa gyabwe ate gyo emikono gyabwe gyogere naffe, n'amagulu gaabwe gawe obujulizi ku ebyo bye baalinga bakola.
अरबी व्याख्याहरू:
وَلَوۡ نَشَآءُ لَطَمَسۡنَا عَلَىٰٓ أَعۡيُنِهِمۡ فَٱسۡتَبَقُواْ ٱلصِّرَٰطَ فَأَنَّىٰ يُبۡصِرُونَ
66 . Singa twayagala twandizibye amaaso gaabwe olwo nno nebaba nga banoonya okudda eri ekkubo, naye nno bandirirabye batya!.
अरबी व्याख्याहरू:
وَلَوۡ نَشَآءُ لَمَسَخۡنَٰهُمۡ عَلَىٰ مَكَانَتِهِمۡ فَمَا ٱسۡتَطَٰعُواْ مُضِيّٗا وَلَا يَرۡجِعُونَ
67 . Era singa twayagala twandikyusizza obutonde bwabwe ne babeera mu kifo awo webali, kale nno tebandisobodde kweyongerayo wadde okudda gye bavudde.
अरबी व्याख्याहरू:
وَمَن نُّعَمِّرۡهُ نُنَكِّسۡهُ فِي ٱلۡخَلۡقِۚ أَفَلَا يَعۡقِلُونَ
68 . Oyo yenna gwe tuba tuwangaazizza tumuzzaayo n'aba munafu mu butonde, abaffe tebategeera!.
अरबी व्याख्याहरू:
وَمَا عَلَّمۡنَٰهُ ٱلشِّعۡرَ وَمَا يَنۢبَغِي لَهُۥٓۚ إِنۡ هُوَ إِلَّا ذِكۡرٞ وَقُرۡءَانٞ مُّبِينٞ
69 . (Nabbi Muhammad) tetumuyigirizanga kutontoma era tekimugwanira, bye yajja nabyo tebiri okugyako nga bya kujjukiza era nga Kur’ani ennyonnyola.
अरबी व्याख्याहरू:
لِّيُنذِرَ مَن كَانَ حَيّٗا وَيَحِقَّ ٱلۡقَوۡلُ عَلَى ٱلۡكَٰفِرِينَ
70 . (Nabbi Muhmmad) alyoke atiise oyo yenna omulamu era ekigambo (eky'ebibonerezo) kikakate ku bakaafiiri.
अरबी व्याख्याहरू:
أَوَلَمۡ يَرَوۡاْ أَنَّا خَلَقۡنَا لَهُم مِّمَّا عَمِلَتۡ أَيۡدِينَآ أَنۡعَٰمٗا فَهُمۡ لَهَا مَٰلِكُونَ
71 . Abaffe tebalaba nti mu bye twabatondera ebyakolebwa e mikono gyaffe z'ensolo bo zebafuga!.
अरबी व्याख्याहरू:
وَذَلَّلۡنَٰهَا لَهُمۡ فَمِنۡهَا رَكُوبُهُمۡ وَمِنۡهَا يَأۡكُلُونَ
72 . Era twabibagondeza, mulimu bye beebagala era nga mulimu bye balya.
अरबी व्याख्याहरू:
وَلَهُمۡ فِيهَا مَنَٰفِعُ وَمَشَارِبُۚ أَفَلَا يَشۡكُرُونَ
73 . Era mu byo balina emigaso (emirala) n'eby'okunywa abaffe tebeebaza!.
अरबी व्याख्याहरू:
وَٱتَّخَذُواْ مِن دُونِ ٱللَّهِ ءَالِهَةٗ لَّعَلَّهُمۡ يُنصَرُونَ
74 . Ate abakaafiiri baleka Katonda ne beeteerawo ebisinzibwa ebirala mbu babe nga bataasibwa.
अरबी व्याख्याहरू:
لَا يَسۡتَطِيعُونَ نَصۡرَهُمۡ وَهُمۡ لَهُمۡ جُندٞ مُّحۡضَرُونَ
75 . So nga tebasobola kubataasa awamu n'okuba nti bo nabyo baliba kibinja ekirireetebwa mu muliro.
अरबी व्याख्याहरू:
فَلَا يَحۡزُنكَ قَوۡلُهُمۡۘ إِنَّا نَعۡلَمُ مَا يُسِرُّونَ وَمَا يُعۡلِنُونَ
76 . Kale nno tebikunyiiza ebigambo bya bwe mazima ffe tumanyi ebyo bye bakweka ne bye bakola mu lwatu.
अरबी व्याख्याहरू:
أَوَلَمۡ يَرَ ٱلۡإِنسَٰنُ أَنَّا خَلَقۡنَٰهُ مِن نُّطۡفَةٖ فَإِذَا هُوَ خَصِيمٞ مُّبِينٞ
77 . Abaffe omuntu talaba nti mazima ffe twamutonda nga tumujja mu mazzi agazaala, ogenda okulaba nga ye muyitirivu wa kukaayana okw'olwatu.
अरबी व्याख्याहरू:
وَضَرَبَ لَنَا مَثَلٗا وَنَسِيَ خَلۡقَهُۥۖ قَالَ مَن يُحۡيِ ٱلۡعِظَٰمَ وَهِيَ رَمِيمٞ
78 . Naatukubira ekifaananyi neyeerabira obutonde bwe, nga agamba nti ani aliramusa amagumba nga gamaze okuba amamerengufu.
अरबी व्याख्याहरू:
قُلۡ يُحۡيِيهَا ٱلَّذِيٓ أَنشَأَهَآ أَوَّلَ مَرَّةٖۖ وَهُوَ بِكُلِّ خَلۡقٍ عَلِيمٌ
79 . Gamba nti agenda kugalamusa oyo eyagatandika omulundi ogwasooka era nga yye amanyidde ddala ebikwata ku buli kitonde.
अरबी व्याख्याहरू:
ٱلَّذِي جَعَلَ لَكُم مِّنَ ٱلشَّجَرِ ٱلۡأَخۡضَرِ نَارٗا فَإِذَآ أَنتُم مِّنۡهُ تُوقِدُونَ
80 . Oyo eyabateerawo omuliro okuva mu muti omubisi okugenda okulaba nga mmwe mukuma omuliro okuva mu gwo (omuti).
अरबी व्याख्याहरू:
أَوَلَيۡسَ ٱلَّذِي خَلَقَ ٱلسَّمَٰوَٰتِ وَٱلۡأَرۡضَ بِقَٰدِرٍ عَلَىٰٓ أَن يَخۡلُقَ مِثۡلَهُمۚ بَلَىٰ وَهُوَ ٱلۡخَلَّٰقُ ٱلۡعَلِيمُ
81 . Abaffe oyo eyatonda eggulu omusanvu n'ensi tasobola kutonda bintu (birala) biringa byo, weewaawo (asobolera ddala) era ddala yye ye mutonzi omumanyi ennyo.
अरबी व्याख्याहरू:
إِنَّمَآ أَمۡرُهُۥٓ إِذَآ أَرَادَ شَيۡـًٔا أَن يَقُولَ لَهُۥ كُن فَيَكُونُ
82 . Mazima ekiragirokye bwaba ayagadde ekintu (kibeewo) agamba bugambi nti bba ne kiba.
अरबी व्याख्याहरू:
فَسُبۡحَٰنَ ٱلَّذِي بِيَدِهِۦ مَلَكُوتُ كُلِّ شَيۡءٖ وَإِلَيۡهِ تُرۡجَعُونَ
83 . N’olwekyo musukkulumu nnyo oyo mu mikono gye mwokka mwemuli obufuzi bwa buli kintu ate nga gyali yokka gye mulizzibwa.
अरबी व्याख्याहरू:
 
अर्थको अनुवाद सूरः: सूरतु यासीन
अध्यायहरूको (सूरःहरूको) सूची رقم الصفحة
 
पवित्र कुरअानको अर्थको अनुवाद - लुगान्डा अनुवाद : अफ्रिकी विकास फाउन्डेशन । - अनुवादहरूको सूची

पवित्र कुर्आनको अर्थको लुगान्डा भाषामा अनुवाद, अनुवादक : अफ्रिकी विकास फाउन्डेशन ।

बन्द गर्नुस्