next

Al-Humaza

prev

1 : 104

وَيۡلٞ لِّكُلِّ هُمَزَةٖ لُّمَزَةٍ

Okubonaabona okwamaanyi kugenda kubeera ku buli muntu atambuza engambo, ageya banne n'abajja obumogo. info
التفاسير: |

2 : 104

ٱلَّذِي جَمَعَ مَالٗا وَعَدَّدَهُۥ

Oyo akungaanya ebyo bugagga n’abituuma. info
التفاسير: |

3 : 104

يَحۡسَبُ أَنَّ مَالَهُۥٓ أَخۡلَدَهُۥ

Alowooza nti eby'obugaggabye byakumukuumira ku nsi olubeerera. info
التفاسير: |

4 : 104

كَلَّاۖ لَيُنۢبَذَنَّ فِي ٱلۡحُطَمَةِ

Nedda, ajja kukanyugwa mu muliro oguyitibwa “Hutwama”. info
التفاسير: |

5 : 104

وَمَآ أَدۡرَىٰكَ مَا ٱلۡحُطَمَةُ

Ye omanyi “Hutwama” kye ki? info
التفاسير: |

6 : 104

نَارُ ٱللَّهِ ٱلۡمُوقَدَةُ

(Hutwama) muliro gwa Allah omukume, ogubumbujja. info
التفاسير: |

7 : 104

ٱلَّتِي تَطَّلِعُ عَلَى ٱلۡأَفۡـِٔدَةِ

Ogwo ogwokya negutuukira ddala ku mitima. info
التفاسير: |

8 : 104

إِنَّهَا عَلَيۡهِم مُّؤۡصَدَةٞ

Mazima ddala omuliro ogwo (Hutwama) ku bantu abo (abogeddwaako) gugenda kubabuutikira. info
التفاسير: |

9 : 104

فِي عَمَدٖ مُّمَدَّدَةِۭ

Mu midumu emiwanvu. info
التفاسير: |
next

Al-Humaza

prev
:
0:00 0:00