د قرآن کریم د معناوو ژباړه - لوګندي ژباړه - د افریقا پرمختیایي بنسټ

next

Al–Buruuj

prev

1 : 85

وَٱلسَّمَآءِ ذَاتِ ٱلۡبُرُوجِ

Ndayira eggulu eririmu ebifo omutambulira emmunyeenye (nga mwe muli e njuba n’omwezi). info
التفاسير: |

2 : 85

وَٱلۡيَوۡمِ ٱلۡمَوۡعُودِ

Era ndayira olunaku olwalagaanyisibwa (Olunaku lw’Enkomerero) info
التفاسير: |

3 : 85

وَشَاهِدٖ وَمَشۡهُودٖ

Era ndayira oyo aliwaayo obujulizi n’oyo gwe balibuwaako (ku Lunaku lw’Enkomerero). info
التفاسير: |

4 : 85

قُتِلَ أَصۡحَٰبُ ٱلۡأُخۡدُودِ

Allah yagoba mu kusaasira Kwe abo abaasima agannya okubonererezaamu Abakkiriza. info
التفاسير: |

5 : 85

ٱلنَّارِ ذَاتِ ٱلۡوَقُودِ

Ge. baakumamu omuliro ogubumbujja. info
التفاسير: |

6 : 85

إِذۡ هُمۡ عَلَيۡهَا قُعُودٞ

Olwo nga bo batudde awo ku mabbali waagwo. info
التفاسير: |

7 : 85

وَهُمۡ عَلَىٰ مَا يَفۡعَلُونَ بِٱلۡمُؤۡمِنِينَ شُهُودٞ

Era nga bo (bennyini) balaba buli kyonna kye bakola ku Bakkiriza. info
التفاسير: |

8 : 85

وَمَا نَقَمُواْ مِنۡهُمۡ إِلَّآ أَن يُؤۡمِنُواْ بِٱللَّهِ ٱلۡعَزِيزِ ٱلۡحَمِيدِ

Tebaalina kye baali babavunaana okuggyako olw'okuba nti bakkiriza Allah Oweekitiibwa atenderezebwa. info
التفاسير: |

9 : 85

ٱلَّذِي لَهُۥ مُلۡكُ ٱلسَّمَٰوَٰتِ وَٱلۡأَرۡضِۚ وَٱللَّهُ عَلَىٰ كُلِّ شَيۡءٖ شَهِيدٌ

Oyo alina obufuzi bw'eggulu omusanvu n'ensi. Era Allah alaba buli kintu. info
التفاسير: |

10 : 85

إِنَّ ٱلَّذِينَ فَتَنُواْ ٱلۡمُؤۡمِنِينَ وَٱلۡمُؤۡمِنَٰتِ ثُمَّ لَمۡ يَتُوبُواْ فَلَهُمۡ عَذَابُ جَهَنَّمَ وَلَهُمۡ عَذَابُ ٱلۡحَرِيقِ

Mazima abo abaawalagganya Abakkiriza abasajja n’Abakkiriza abakazi ate ne bateenenya, baakutuukibwako ebibonerezo by’Omuliro Jahannama era balina ebibonerezo by’Omuliro ogwokya ennyo. info
التفاسير: |

11 : 85

إِنَّ ٱلَّذِينَ ءَامَنُواْ وَعَمِلُواْ ٱلصَّٰلِحَٰتِ لَهُمۡ جَنَّٰتٞ تَجۡرِي مِن تَحۡتِهَا ٱلۡأَنۡهَٰرُۚ ذَٰلِكَ ٱلۡفَوۡزُ ٱلۡكَبِيرُ

Mazima abo abakkiriza ne bakola emirimu emirungi bajja kufuna Ejjana nga zikulukutiramu emigga. Okwo nno kwe kwesiima okwannamaddala. info
التفاسير: |

12 : 85

إِنَّ بَطۡشَ رَبِّكَ لَشَدِيدٌ

Mazima okukwata kwa Mukama Wo kwamaanyi nnyo. info
التفاسير: |

13 : 85

إِنَّهُۥ هُوَ يُبۡدِئُ وَيُعِيدُ

Mazima ddala Yye Ye Mutandisi Wa buli kintu era Ye Wookubizzaawo. info
التفاسير: |

14 : 85

وَهُوَ ٱلۡغَفُورُ ٱلۡوَدُودُ

Era Ye Musonyiyi ennyo, era ayagala ennyo mikwano Gye. info
التفاسير: |

15 : 85

ذُو ٱلۡعَرۡشِ ٱلۡمَجِيدُ

Nnannyini Arishi, Oweekitiibwa. info
التفاسير: |

16 : 85

فَعَّالٞ لِّمَا يُرِيدُ

Akola buli ky’aba ayagadde. info
التفاسير: |

17 : 85

هَلۡ أَتَىٰكَ حَدِيثُ ٱلۡجُنُودِ

Wali owulidde ku kyafaayo ky’amagye. info
التفاسير: |

18 : 85

فِرۡعَوۡنَ وَثَمُودَ

Aga Falaawo n’abantu ba Thamuudu? info
التفاسير: |

19 : 85

بَلِ ٱلَّذِينَ كَفَرُواْ فِي تَكۡذِيبٖ

Wabula abo abatakkiriza bali mu kulimbisa. info
التفاسير: |

20 : 85

وَٱللَّهُ مِن وَرَآئِهِم مُّحِيطُۢ

So nga Allah abeetoolodde. info
التفاسير: |

21 : 85

بَلۡ هُوَ قُرۡءَانٞ مَّجِيدٞ

Wabula yo Kulaani ya kitiibwa. info
التفاسير: |

22 : 85

فِي لَوۡحٖ مَّحۡفُوظِۭ

Eri mu ggwandiikiro erikuumwa obutiribiri. info
التفاسير: |
next

Al–Buruuj

prev
:
0:00 0:00