Check out the new design

《古兰经》译解 - 卢干达语翻译 - 非洲发展机构 * - 译解目录


含义的翻译 章: 伊斯拉仪   段:
وَبِٱلۡحَقِّ أَنزَلۡنَٰهُ وَبِٱلۡحَقِّ نَزَلَۗ وَمَآ أَرۡسَلۡنَٰكَ إِلَّا مُبَشِّرٗا وَنَذِيرٗا
105 . (Kur’ani eno) twagissa na mazima era yaleeta mazima era tetwakutuma okugyako lwa kuba nga owa amawulire ag'essanyu era nga oli mutiisa.
阿拉伯语经注:
وَقُرۡءَانٗا فَرَقۡنَٰهُ لِتَقۡرَأَهُۥ عَلَى ٱلنَّاسِ عَلَىٰ مُكۡثٖ وَنَزَّلۡنَٰهُ تَنزِيلٗا
106 . Era Kur’ani twagyawulamu ebitundu obe nga ogisomere abantu mu ngeri y'empola mpola era twagissa olussa (olw'ebitundu tundu).
阿拉伯语经注:
قُلۡ ءَامِنُواْ بِهِۦٓ أَوۡ لَا تُؤۡمِنُوٓاْۚ إِنَّ ٱلَّذِينَ أُوتُواْ ٱلۡعِلۡمَ مِن قَبۡلِهِۦٓ إِذَا يُتۡلَىٰ عَلَيۡهِمۡ يَخِرُّونَۤ لِلۡأَذۡقَانِۤ سُجَّدٗاۤ
107 . Gamba nti kamugikkirize oba temugikkiriza (kasita) mazima abo abaaweebwa okumanya nga tonajja, bwe basomerwa bagwira ku bulevu bwa bwe nga bavunnama.
阿拉伯语经注:
وَيَقُولُونَ سُبۡحَٰنَ رَبِّنَآ إِن كَانَ وَعۡدُ رَبِّنَا لَمَفۡعُولٗا
108 . Era nga bagamba nti Mukama omulabirizi waffe musukkulumu, endagaano ya Mukama omulabirizi waffe bulijjo etuukirizibwa.
阿拉伯语经注:
وَيَخِرُّونَ لِلۡأَذۡقَانِ يَبۡكُونَ وَيَزِيدُهُمۡ خُشُوعٗا۩
109 . Era bagwira ku bulevu (bwa bwe) nga bakaaba, ekibongera okugonda.
阿拉伯语经注:
قُلِ ٱدۡعُواْ ٱللَّهَ أَوِ ٱدۡعُواْ ٱلرَّحۡمَٰنَۖ أَيّٗا مَّا تَدۡعُواْ فَلَهُ ٱلۡأَسۡمَآءُ ٱلۡحُسۡنَىٰۚ وَلَا تَجۡهَرۡ بِصَلَاتِكَ وَلَا تُخَافِتۡ بِهَا وَٱبۡتَغِ بَيۡنَ ذَٰلِكَ سَبِيلٗا
110 . Bagambe nti musabe Katonda oba musabe omusaasizi, erinnya (lye) mukozesa nga mumusaba likola, anti alina amannya agasinga obulungi, toleekaana nga osaba era tossa nnyo ddoboozi lyo nga osaba, wakati w'ebyo wooba onoonya enkolayo.
阿拉伯语经注:
وَقُلِ ٱلۡحَمۡدُ لِلَّهِ ٱلَّذِي لَمۡ يَتَّخِذۡ وَلَدٗا وَلَمۡ يَكُن لَّهُۥ شَرِيكٞ فِي ٱلۡمُلۡكِ وَلَمۡ يَكُن لَّهُۥ وَلِيّٞ مِّنَ ٱلذُّلِّۖ وَكَبِّرۡهُ تَكۡبِيرَۢا
111 . Era gamba nti ebitendo byonna bya Katonda oyo ateeteerawo mwana, era atabangako na muyambi mu bufuzibwe, era tabangako na mutaasa mbu amuwonye okuswala olw'ebyandimulemye, era mugulumize olugulumiza.
阿拉伯语经注:
 
含义的翻译 章: 伊斯拉仪
章节目录 页码
 
《古兰经》译解 - 卢干达语翻译 - 非洲发展机构 - 译解目录

来自非洲发展机构。

关闭