Check out the new design

《古兰经》译解 - 卢干达语翻译 - 非洲发展机构 * - 译解目录


含义的翻译 章: 穆米尼奈   段:
مَا تَسۡبِقُ مِنۡ أُمَّةٍ أَجَلَهَا وَمَا يَسۡتَـٔۡخِرُونَ
43 . Tewali mulembe guyinza kukulembera kiseera kyagugererwa, era tebayinza kwagala kwongezebwayo (nebakufuna).
阿拉伯语经注:
ثُمَّ أَرۡسَلۡنَا رُسُلَنَا تَتۡرَاۖ كُلَّ مَا جَآءَ أُمَّةٗ رَّسُولُهَا كَذَّبُوهُۖ فَأَتۡبَعۡنَا بَعۡضَهُم بَعۡضٗا وَجَعَلۡنَٰهُمۡ أَحَادِيثَۚ فَبُعۡدٗا لِّقَوۡمٖ لَّا يُؤۡمِنُونَ
44 . Oluvanyuma twatuma ababaka baffe nga bagoberegana, buli bantu bwe bajjirwanga omubaka waabwe nga bamulimbisa, olwo nno abamu ne tubakwasa ekkubo bannaabwe lye baakwata (mu kuzikirira) ne tubafuula eky'okwogerwako kale nno babeere wala nnyo abantu abatakkiriza.
阿拉伯语经注:
ثُمَّ أَرۡسَلۡنَا مُوسَىٰ وَأَخَاهُ هَٰرُونَ بِـَٔايَٰتِنَا وَسُلۡطَٰنٖ مُّبِينٍ
45 . Oluvanyuma twatuma Musa ne Mugandawe Haruna nga tubawadde eby'amagero byaffe n'obujulizi obw'enkukunala.
阿拉伯语经注:
إِلَىٰ فِرۡعَوۡنَ وَمَلَإِيْهِۦ فَٱسۡتَكۡبَرُواْ وَكَانُواْ قَوۡمًا عَالِينَ
46 . Bagende ewa Firaawo n'abakungube (wabula be twatuma bwe baagenda gye bali) ne beekuza ne babeera abantu abeetwala okuba aba waggulu.
阿拉伯语经注:
فَقَالُوٓاْ أَنُؤۡمِنُ لِبَشَرَيۡنِ مِثۡلِنَا وَقَوۡمُهُمَا لَنَا عَٰبِدُونَ
47 . Nebagamba nti tukkirize abantu ababiri abafaanana nga ffe ng'ate abantu baabwe batusinza businza!.
阿拉伯语经注:
فَكَذَّبُوهُمَا فَكَانُواْ مِنَ ٱلۡمُهۡلَكِينَ
48 . Ne babalimbisa bombi olwo nno ne baba mu abo abaazikirizibwa.
阿拉伯语经注:
وَلَقَدۡ ءَاتَيۡنَا مُوسَى ٱلۡكِتَٰبَ لَعَلَّهُمۡ يَهۡتَدُونَ
49 . Era mazima twawa Musa ekitabo babe nga balungama.
阿拉伯语经注:
وَجَعَلۡنَا ٱبۡنَ مَرۡيَمَ وَأُمَّهُۥٓ ءَايَةٗ وَءَاوَيۡنَٰهُمَآ إِلَىٰ رَبۡوَةٖ ذَاتِ قَرَارٖ وَمَعِينٖ
50 . Twafuula Mutabani wa Mariam ne Maamawe akabonero, ne tubawa obutuulo mu kifo e kisitufu e kibeerekamu nga kirimu n'amazzi agakulukuta.
阿拉伯语经注:
يَٰٓأَيُّهَا ٱلرُّسُلُ كُلُواْ مِنَ ٱلطَّيِّبَٰتِ وَٱعۡمَلُواْ صَٰلِحًاۖ إِنِّي بِمَا تَعۡمَلُونَ عَلِيمٞ
51 . Abange mmwe ababaka mulye ebikkirizibwa okuliibwa, era mukole emirimu emirungi mazima nze manyidde ddala ebyo bye mukola.
阿拉伯语经注:
وَإِنَّ هَٰذِهِۦٓ أُمَّتُكُمۡ أُمَّةٗ وَٰحِدَةٗ وَأَنَا۠ رَبُّكُمۡ فَٱتَّقُونِ
52 . Mazima ddala e kibiina kya mmwe kino (eddiini yammwe) kiri ekibiina kimu nange nze Mukama omulabirizi wa mmwe kale muntye.
阿拉伯语经注:
فَتَقَطَّعُوٓاْ أَمۡرَهُم بَيۡنَهُمۡ زُبُرٗاۖ كُلُّ حِزۡبِۭ بِمَا لَدَيۡهِمۡ فَرِحُونَ
53 . Naye abantu beekutulamu wakati waabwe ku kigambo kyaabwe (eky'eddiini), ebibiina bingi nga buli kibinja (abantu baakyo) basanyuka n'ebyo bye balina.
阿拉伯语经注:
فَذَرۡهُمۡ فِي غَمۡرَتِهِمۡ حَتَّىٰ حِينٍ
54 . Kale baleke mu bubuze bwa bwe okutuusa ekiseera (ekyabagererwa).
阿拉伯语经注:
أَيَحۡسَبُونَ أَنَّمَا نُمِدُّهُم بِهِۦ مِن مَّالٖ وَبَنِينَ
55 . Abaffe balowooza bye tubawa mu mmaali n'abaana.
阿拉伯语经注:
نُسَارِعُ لَهُمۡ فِي ٱلۡخَيۡرَٰتِۚ بَل لَّا يَشۡعُرُونَ
56 . Tuba tubanguyiza kwe yongera kufuna birungi! wabula tebategeera.
阿拉伯语经注:
إِنَّ ٱلَّذِينَ هُم مِّنۡ خَشۡيَةِ رَبِّهِم مُّشۡفِقُونَ
57 . Mazima abo abeeraliikirira okutuukiriza obuvunaanyizibwa bw'okutya Mukama omulabirizi waabwe.
阿拉伯语经注:
وَٱلَّذِينَ هُم بِـَٔايَٰتِ رَبِّهِمۡ يُؤۡمِنُونَ
58 . Era abo ebigambo ebyassibwa okuva ewa Mukama omulabirizi waabwe babikkiriza.
阿拉伯语经注:
وَٱلَّذِينَ هُم بِرَبِّهِمۡ لَا يُشۡرِكُونَ
59 . Era abo abatagatta kintu kirala ku Mukama omulabirizi wa bwe.
阿拉伯语经注:
 
含义的翻译 章: 穆米尼奈
章节目录 页码
 
《古兰经》译解 - 卢干达语翻译 - 非洲发展机构 - 译解目录

来自非洲发展机构。

关闭