Check out the new design

የቅዱስ ቁርዓን ይዘት ትርጉም - ሉጋንዳኛ ትርጉም - የአፍሪካ ልማት ተቋም * - የትርጉሞች ማዉጫ


የይዘት ትርጉም ምዕራፍ: አል ኢስራዕ   አንቀጽ:
عَسَىٰ رَبُّكُمۡ أَن يَرۡحَمَكُمۡۚ وَإِنۡ عُدتُّمۡ عُدۡنَاۚ وَجَعَلۡنَا جَهَنَّمَ لِلۡكَٰفِرِينَ حَصِيرًا
8 . Bwe muyisa obulungi kisoboka Mukama omulabirizi wa mmwe okubasaasira, naye bwe muddamu naffe nga tuddamu, ate nga omuliro Jahannama twagufuula ekkomera lya bakaafiiri.
የአረብኛ ቁርኣን ማብራሪያ:
إِنَّ هَٰذَا ٱلۡقُرۡءَانَ يَهۡدِي لِلَّتِي هِيَ أَقۡوَمُ وَيُبَشِّرُ ٱلۡمُؤۡمِنِينَ ٱلَّذِينَ يَعۡمَلُونَ ٱلصَّٰلِحَٰتِ أَنَّ لَهُمۡ أَجۡرٗا كَبِيرٗا
9 . Mazima Kur’ani eno erungamya eri ekkubo erisinga obugolokofu, era ewa abakkiriza abo abakola emirimu emirongoofu amawulire ag'essanyu nti: mazima bo baakufuna empeera ensukkulumu.
የአረብኛ ቁርኣን ማብራሪያ:
وَأَنَّ ٱلَّذِينَ لَا يُؤۡمِنُونَ بِٱلۡأٓخِرَةِ أَعۡتَدۡنَا لَهُمۡ عَذَابًا أَلِيمٗا
10 . Era nti mazima ddala abo abatakkiriza lunaku lwa nkomerero twabagerekera ebibonerezo ebiruma ennyo.
የአረብኛ ቁርኣን ማብራሪያ:
وَيَدۡعُ ٱلۡإِنسَٰنُ بِٱلشَّرِّ دُعَآءَهُۥ بِٱلۡخَيۡرِۖ وَكَانَ ٱلۡإِنسَٰنُ عَجُولٗا
11 . Omuntu (olw'ebizibu ebimutuukako) yeesabira ebibi nga bwe yandyesabidde ebirungi, anti bulijjo omuntu ayanguyiriza.
የአረብኛ ቁርኣን ማብራሪያ:
وَجَعَلۡنَا ٱلَّيۡلَ وَٱلنَّهَارَ ءَايَتَيۡنِۖ فَمَحَوۡنَآ ءَايَةَ ٱلَّيۡلِ وَجَعَلۡنَآ ءَايَةَ ٱلنَّهَارِ مُبۡصِرَةٗ لِّتَبۡتَغُواْ فَضۡلٗا مِّن رَّبِّكُمۡ وَلِتَعۡلَمُواْ عَدَدَ ٱلسِّنِينَ وَٱلۡحِسَابَۚ وَكُلَّ شَيۡءٖ فَصَّلۡنَٰهُ تَفۡصِيلٗا
12 . Era twassaawo ekiro n'emisana, nga bubonero bubiri, olwo nno tujjawo akabonero k'ekiro netussaawo akabonero k'emisana, nekabasobozesa okulaba mulyoke musobole okumanya ebigabwa bya Mukama omulabirizi wa mmwe, era musobole okumanya omuwendo gw'emyaka n'okubala, era buli kintu twakinnyonnyola olunnyonnyola olumala.
የአረብኛ ቁርኣን ማብራሪያ:
وَكُلَّ إِنسَٰنٍ أَلۡزَمۡنَٰهُ طَٰٓئِرَهُۥ فِي عُنُقِهِۦۖ وَنُخۡرِجُ لَهُۥ يَوۡمَ ٱلۡقِيَٰمَةِ كِتَٰبٗا يَلۡقَىٰهُ مَنشُورًا
13 . Era buli muntu twamukakasaako emirimugye mu nsingoye, era ku lunaku lw'enkomerero tugenda kumuggyirayo ekitabo kyalisanga nga kibikkule.
የአረብኛ ቁርኣን ማብራሪያ:
ٱقۡرَأۡ كِتَٰبَكَ كَفَىٰ بِنَفۡسِكَ ٱلۡيَوۡمَ عَلَيۡكَ حَسِيبٗا
14 . Olwo nno aliragirwa nti soma ekitabokyo, kimala bumazi okuba nti olwa leero ggwe wennyini ggwe ogenda okwebala.
የአረብኛ ቁርኣን ማብራሪያ:
مَّنِ ٱهۡتَدَىٰ فَإِنَّمَا يَهۡتَدِي لِنَفۡسِهِۦۖ وَمَن ضَلَّ فَإِنَّمَا يَضِلُّ عَلَيۡهَاۚ وَلَا تَزِرُ وَازِرَةٞ وِزۡرَ أُخۡرَىٰۗ وَمَا كُنَّا مُعَذِّبِينَ حَتَّىٰ نَبۡعَثَ رَسُولٗا
15 . Oyo yenna alungama alungamira mwoyogwe, ate abula omwoyogwe gwaba aleetedde obuzibu bw'okubula, tewali mwoyo mwonoonyi gugenda kwetikka kyonoono kya mwoyo mwonoonyi mulala, era tetusobola kubonereza okugyako nga tutumye omubaka.
የአረብኛ ቁርኣን ማብራሪያ:
وَإِذَآ أَرَدۡنَآ أَن نُّهۡلِكَ قَرۡيَةً أَمَرۡنَا مُتۡرَفِيهَا فَفَسَقُواْ فِيهَا فَحَقَّ عَلَيۡهَا ٱلۡقَوۡلُ فَدَمَّرۡنَٰهَا تَدۡمِيرٗا
16 . Bwetuba twagadde okuzikiriza ekitundu kyonna (olw'obujeemu bwakyo) tulagira abali mu byengera (okweyisa obulungi) naye ate nebeeyisa bubi mu kyo, olwo nno ekigambo (eky'okubonerezebwa) nekikikakata, olwo nno netukisesebbula olusesebbula.
የአረብኛ ቁርኣን ማብራሪያ:
وَكَمۡ أَهۡلَكۡنَا مِنَ ٱلۡقُرُونِ مِنۢ بَعۡدِ نُوحٖۗ وَكَفَىٰ بِرَبِّكَ بِذُنُوبِ عِبَادِهِۦ خَبِيرَۢا بَصِيرٗا
17 . Mirembe emeka gye twazikiriza oluvanyuma lwa Nuhu (nga mingi!), Mukama omulabiriziwo amalira ddala ku bikwata ku bibonerezo bya baddube, okuba nti amanyidde ddala alaba.
የአረብኛ ቁርኣን ማብራሪያ:
 
የይዘት ትርጉም ምዕራፍ: አል ኢስራዕ
የምዕራፎች ማውጫ የገፅ ቁጥር
 
የቅዱስ ቁርዓን ይዘት ትርጉም - ሉጋንዳኛ ትርጉም - የአፍሪካ ልማት ተቋም - የትርጉሞች ማዉጫ

ምንጭ ከአፍሪካ የልማት ፋውንዴሽን

መዝጋት