Check out the new design

የቅዱስ ቁርዓን ይዘት ትርጉም - ሉጋንዳኛ ትርጉም - የአፍሪካ ልማት ተቋም * - የትርጉሞች ማዉጫ


የይዘት ትርጉም ምዕራፍ: አል ኢስራዕ   አንቀጽ:
وَإِمَّا تُعۡرِضَنَّ عَنۡهُمُ ٱبۡتِغَآءَ رَحۡمَةٖ مِّن رَّبِّكَ تَرۡجُوهَا فَقُل لَّهُمۡ قَوۡلٗا مَّيۡسُورٗا
28 . Naye bwobanga tobawadde (olw'ensonga yonna), naye ate nga oyagala era nga osuubira okusaasira kwa Mukama omulabiriziwo olwo nno bagambe ekigambo ekigonvu.
የአረብኛ ቁርኣን ማብራሪያ:
وَلَا تَجۡعَلۡ يَدَكَ مَغۡلُولَةً إِلَىٰ عُنُقِكَ وَلَا تَبۡسُطۡهَا كُلَّ ٱلۡبَسۡطِ فَتَقۡعُدَ مَلُومٗا مَّحۡسُورًا
29 . Omukono gwo togufuulanga oguwanikiddwa ku nsingoyo (olw'obukodo), ate togwanjuluzanga n'ogumalayo (olw'okudiibuuda), n'ofuuka anenyezebwa atasigazizza.
የአረብኛ ቁርኣን ማብራሪያ:
إِنَّ رَبَّكَ يَبۡسُطُ ٱلرِّزۡقَ لِمَن يَشَآءُ وَيَقۡدِرُۚ إِنَّهُۥ كَانَ بِعِبَادِهِۦ خَبِيرَۢا بَصِيرٗا
30 . Mazima Mukama omulabiriziwo ayanjuluriza riziki oyo gwaba ayagadde, naawa mu ngeri y'empola (eri omulala) anti mazima yye bulijjo amanyidde ddala ebikwata ku baddube era alaba.
የአረብኛ ቁርኣን ማብራሪያ:
وَلَا تَقۡتُلُوٓاْ أَوۡلَٰدَكُمۡ خَشۡيَةَ إِمۡلَٰقٖۖ نَّحۡنُ نَرۡزُقُهُمۡ وَإِيَّاكُمۡۚ إِنَّ قَتۡلَهُمۡ كَانَ خِطۡـٔٗا كَبِيرٗا
31 . Era temuttanga abaana ba mmwe olw'okutya obwavu (okubalumba), ffe tubagabira netugabira nammwe, mazima okubatta kibi kiyitirivu.
የአረብኛ ቁርኣን ማብራሪያ:
وَلَا تَقۡرَبُواْ ٱلزِّنَىٰٓۖ إِنَّهُۥ كَانَ فَٰحِشَةٗ وَسَآءَ سَبِيلٗا
32 . Era temusembereranga obwenzi, mazima bwo kya buwemu era kkubo bbi.
የአረብኛ ቁርኣን ማብራሪያ:
وَلَا تَقۡتُلُواْ ٱلنَّفۡسَ ٱلَّتِي حَرَّمَ ٱللَّهُ إِلَّا بِٱلۡحَقِّۗ وَمَن قُتِلَ مَظۡلُومٗا فَقَدۡ جَعَلۡنَا لِوَلِيِّهِۦ سُلۡطَٰنٗا فَلَا يُسۡرِف فِّي ٱلۡقَتۡلِۖ إِنَّهُۥ كَانَ مَنصُورٗا
33 . Era temuttanga omuntu oyo Katonda gwe yaziza okutta okugyako nga waliwo ensonga, oyo yenna attibwa nga alangibwa bwereere mazima twawa nannyiniye obuyinza (okutta eyatta omuntuwe) wabula mu kutta tosaanye kusukka kikomo anti mazima yye (attiddwa) ataasibwa (n'etteeka).
የአረብኛ ቁርኣን ማብራሪያ:
وَلَا تَقۡرَبُواْ مَالَ ٱلۡيَتِيمِ إِلَّا بِٱلَّتِي هِيَ أَحۡسَنُ حَتَّىٰ يَبۡلُغَ أَشُدَّهُۥۚ وَأَوۡفُواْ بِٱلۡعَهۡدِۖ إِنَّ ٱلۡعَهۡدَ كَانَ مَسۡـُٔولٗا
34 . Temusembereranga emmaali ya mulekwa, okugyako lwa kugikolako ekyo ekisinga obulungi, okutuusa lwasajjakula.Era mutuukirizenga endagaano mazima endagaano yaakukubuuzibwa.
የአረብኛ ቁርኣን ማብራሪያ:
وَأَوۡفُواْ ٱلۡكَيۡلَ إِذَا كِلۡتُمۡ وَزِنُواْ بِٱلۡقِسۡطَاسِ ٱلۡمُسۡتَقِيمِۚ ذَٰلِكَ خَيۡرٞ وَأَحۡسَنُ تَأۡوِيلٗا
35 . Era mutuukirizenga ebigero bye mugera era mupime n'ebipimo ebituufu, ekyo kye kirungi era kye kituusa ku nkomerero ennungi.
የአረብኛ ቁርኣን ማብራሪያ:
وَلَا تَقۡفُ مَا لَيۡسَ لَكَ بِهِۦ عِلۡمٌۚ إِنَّ ٱلسَّمۡعَ وَٱلۡبَصَرَ وَٱلۡفُؤَادَ كُلُّ أُوْلَٰٓئِكَ كَانَ عَنۡهُ مَسۡـُٔولٗا
36 . Tewessanga ku kintu kyotalinaako kumanya, mazima okuwulira, n'okulaba, n'omutima. Ebyo byonna buli kimu kigenda kubuuzibwa.
የአረብኛ ቁርኣን ማብራሪያ:
وَلَا تَمۡشِ فِي ٱلۡأَرۡضِ مَرَحًاۖ إِنَّكَ لَن تَخۡرِقَ ٱلۡأَرۡضَ وَلَن تَبۡلُغَ ٱلۡجِبَالَ طُولٗا
37 . Totambulanga mu nsi nga weeraga, mazima ggwe togenda kwabya ttaka era togenda kwenkana nsozi buwanvu.
የአረብኛ ቁርኣን ማብራሪያ:
كُلُّ ذَٰلِكَ كَانَ سَيِّئُهُۥ عِندَ رَبِّكَ مَكۡرُوهٗا
38 . Ekibi kya buli kimu ku ebyo, kitamwa ewa Mukama omulabiriziwo.
የአረብኛ ቁርኣን ማብራሪያ:
 
የይዘት ትርጉም ምዕራፍ: አል ኢስራዕ
የምዕራፎች ማውጫ የገፅ ቁጥር
 
የቅዱስ ቁርዓን ይዘት ትርጉም - ሉጋንዳኛ ትርጉም - የአፍሪካ ልማት ተቋም - የትርጉሞች ማዉጫ

ምንጭ ከአፍሪካ የልማት ፋውንዴሽን

መዝጋት