Check out the new design

የቅዱስ ቁርዓን ይዘት ትርጉም - ሉጋንዳኛ ትርጉም - የአፍሪካ ልማት ተቋም * - የትርጉሞች ማዉጫ


የይዘት ትርጉም ምዕራፍ: አል ኢስራዕ   አንቀጽ:
مَّن كَانَ يُرِيدُ ٱلۡعَاجِلَةَ عَجَّلۡنَا لَهُۥ فِيهَا مَا نَشَآءُ لِمَن نُّرِيدُ ثُمَّ جَعَلۡنَا لَهُۥ جَهَنَّمَ يَصۡلَىٰهَا مَذۡمُومٗا مَّدۡحُورٗا
18 . Oyo ayagala eby'amangu (ensi) tumwanguyiza muyo ekyo kye tuba twagadde si buli omu wabula oyo gwe tuba tusazeewo, oluvanyuma netumuteerawo omuliro Jahannama agenda kugwesogga nga avumirirwa nga agobeddwa (mu kusaasira kwa Katonda).
የአረብኛ ቁርኣን ማብራሪያ:
وَمَنۡ أَرَادَ ٱلۡأٓخِرَةَ وَسَعَىٰ لَهَا سَعۡيَهَا وَهُوَ مُؤۡمِنٞ فَأُوْلَٰٓئِكَ كَانَ سَعۡيُهُم مَّشۡكُورٗا
19 . Ate omuntu ayagala enkomerero era naakola ebyetaagisa ku yo, era nga mukkiriza, abo nno bye bakola byebazibwa.
የአረብኛ ቁርኣን ማብራሪያ:
كُلّٗا نُّمِدُّ هَٰٓؤُلَآءِ وَهَٰٓؤُلَآءِ مِنۡ عَطَآءِ رَبِّكَۚ وَمَا كَانَ عَطَآءُ رَبِّكَ مَحۡظُورًا
20 . Buli bamu (abalungi n'ababi ku nsi) tuwa bano nabali okuva mu bigabwa bya Mukama omulabiriziwo. Okugaba kwa Mukama omulabiriziwo tekussibwangako kkomo (ku muntu yenna kuno ku nsi).
የአረብኛ ቁርኣን ማብራሪያ:
ٱنظُرۡ كَيۡفَ فَضَّلۡنَا بَعۡضَهُمۡ عَلَىٰ بَعۡضٖۚ وَلَلۡأٓخِرَةُ أَكۡبَرُ دَرَجَٰتٖ وَأَكۡبَرُ تَفۡضِيلٗا
21 . Tunula olabe engeri gye twasukkulumya abamu ku balala, wabula enkomerero y'erimu amadaala agasinga obukulu era y'erimu okusingana okusinga obulungi.
የአረብኛ ቁርኣን ማብራሪያ:
لَّا تَجۡعَلۡ مَعَ ٱللَّهِ إِلَٰهًا ءَاخَرَ فَتَقۡعُدَ مَذۡمُومٗا مَّخۡذُولٗا
22 . Katonda tomussangako ba katonda balala, olwo nno nekikufuula avumirirwa aboolebwa.
የአረብኛ ቁርኣን ማብራሪያ:
۞ وَقَضَىٰ رَبُّكَ أَلَّا تَعۡبُدُوٓاْ إِلَّآ إِيَّاهُ وَبِٱلۡوَٰلِدَيۡنِ إِحۡسَٰنًاۚ إِمَّا يَبۡلُغَنَّ عِندَكَ ٱلۡكِبَرَ أَحَدُهُمَآ أَوۡ كِلَاهُمَا فَلَا تَقُل لَّهُمَآ أُفّٖ وَلَا تَنۡهَرۡهُمَا وَقُل لَّهُمَا قَوۡلٗا كَرِيمٗا
23 . Mukama omulabiriziwo yasalawo okuba nga temusinza okugyako yye, yekka. Era yasalawo abazadde ababiri okuyisibwa obulungi, singa omu ku bo, oba bombi akaddiwa nga wooli, tobagambanga ekigambo eky'okubeenyinyala era tobaboggoleranga yogera nabo ebigambo eby'ensa.
የአረብኛ ቁርኣን ማብራሪያ:
وَٱخۡفِضۡ لَهُمَا جَنَاحَ ٱلذُّلِّ مِنَ ٱلرَّحۡمَةِ وَقُل رَّبِّ ٱرۡحَمۡهُمَا كَمَا رَبَّيَانِي صَغِيرٗا
24 . Beetoowalize era wekkakkanye gye bali olw'okubasaasira.Era gamba nti ayi Mukama omulabirizi wange basaasire bombi nga bwe bandera nga ndi muto.
የአረብኛ ቁርኣን ማብራሪያ:
رَّبُّكُمۡ أَعۡلَمُ بِمَا فِي نُفُوسِكُمۡۚ إِن تَكُونُواْ صَٰلِحِينَ فَإِنَّهُۥ كَانَ لِلۡأَوَّٰبِينَ غَفُورٗا
25 . Mukama omulabirizi wa mmwe, y'asinga okumanya ebyo ebiri mu myoyo gya mmwe (bye mukwese), bwe muba nga muli abalongoosa, bulijjo musonyiyi w'abo abamwemenyera.
የአረብኛ ቁርኣን ማብራሪያ:
وَءَاتِ ذَا ٱلۡقُرۡبَىٰ حَقَّهُۥ وَٱلۡمِسۡكِينَ وَٱبۡنَ ٱلسَّبِيلِ وَلَا تُبَذِّرۡ تَبۡذِيرًا
26 . Ow'olugandalwo ow'okumpi muwenga ekyo kyoteekwa okumuwa, era owe omunaku n'omutambuze, todiibuuda obudiibuuzi.
የአረብኛ ቁርኣን ማብራሪያ:
إِنَّ ٱلۡمُبَذِّرِينَ كَانُوٓاْ إِخۡوَٰنَ ٱلشَّيَٰطِينِۖ وَكَانَ ٱلشَّيۡطَٰنُ لِرَبِّهِۦ كَفُورٗا
27 . Mazima abadiibuuzi be bayambi ba Sitane (mu bwonoonefu n'obujeemu). Ate bulijjo Sitane mujeemu eri Mukama omulabiriziwe.
የአረብኛ ቁርኣን ማብራሪያ:
 
የይዘት ትርጉም ምዕራፍ: አል ኢስራዕ
የምዕራፎች ማውጫ የገፅ ቁጥር
 
የቅዱስ ቁርዓን ይዘት ትርጉም - ሉጋንዳኛ ትርጉም - የአፍሪካ ልማት ተቋም - የትርጉሞች ማዉጫ

ምንጭ ከአፍሪካ የልማት ፋውንዴሽን

መዝጋት