next

Najmu

prev

1 : 53

وَٱلنَّجۡمِ إِذَا هَوَىٰ

Ndayidde emunyeenye bweba nga egudde. info
التفاسير: |

2 : 53

مَا ضَلَّ صَاحِبُكُمۡ وَمَا غَوَىٰ

Munammwe (Muhammadi) tabulanga kuva ku bulungamu era tayonoonanga. info
التفاسير: |

3 : 53

وَمَا يَنطِقُ عَنِ ٱلۡهَوَىٰٓ

Era tayogera nga asinziira ku kwagala (kwe). info
التفاسير: |

4 : 53

إِنۡ هُوَ إِلَّا وَحۡيٞ يُوحَىٰ

Tebiri byo (byayogera) okugyako okuba nti bubaka obuwereezebwa (gyali nga buva ewa Katonda). info
التفاسير: |

5 : 53

عَلَّمَهُۥ شَدِيدُ ٱلۡقُوَىٰ

Yabimuyigiriza owamaanyi amayitirivu (Malayika Jiburilu). info
التفاسير: |

6 : 53

ذُو مِرَّةٖ فَٱسۡتَوَىٰ

Jibriilu nannyini busobozi n'amanyi mubutonde bwe ajudde. info
التفاسير: |

7 : 53

وَهُوَ بِٱلۡأُفُقِ ٱلۡأَعۡلَىٰ

Bweyali mu bifo ebisinga okuba ebya waggulu mu bwengula. info
التفاسير: |

8 : 53

ثُمَّ دَنَا فَتَدَلَّىٰ

Oluvanyuma (Jiburilu) yasembera olwo nebaba kumpi (ne Nabbi). info
التفاسير: |

9 : 53

فَكَانَ قَابَ قَوۡسَيۡنِ أَوۡ أَدۡنَىٰ

Olwo nno (okusembera) nekuba nga okusemberagana kw'ensonda za kasale ebbiri oba kumpi okusingako awo. info
التفاسير: |

10 : 53

فَأَوۡحَىٰٓ إِلَىٰ عَبۡدِهِۦ مَآ أَوۡحَىٰ

Olwo nno (Katonda) naatumira omuddu we ekyo kye yamutumira nga akozesa Jiburilu. info
التفاسير: |

11 : 53

مَا كَذَبَ ٱلۡفُؤَادُ مَا رَأَىٰٓ

Emmeme (ya Nabbi Muhammadi) teyalimba kwebyo bye yalaba. info
التفاسير: |

12 : 53

أَفَتُمَٰرُونَهُۥ عَلَىٰ مَا يَرَىٰ

Abaffe mumuwakanya kwekyo kyalaba. info
التفاسير: |

13 : 53

وَلَقَدۡ رَءَاهُ نَزۡلَةً أُخۡرَىٰ

Ate nga mazima yamulaba omulundi omulala. info
التفاسير: |

14 : 53

عِندَ سِدۡرَةِ ٱلۡمُنتَهَىٰ

Mu kifo awali (omuti) Sidirat munitaha awakuumwa. info
التفاسير: |

15 : 53

عِندَهَا جَنَّةُ ٱلۡمَأۡوَىٰٓ

Weguli awo wewali e jjana ewummulirwamu (bo Malayika mwe bawummulira). info
التفاسير: |

16 : 53

إِذۡ يَغۡشَى ٱلسِّدۡرَةَ مَا يَغۡشَىٰ

Mu kiseera omuti Asidira bwe gwabikkibwa ekya gubikka. info
التفاسير: |

17 : 53

مَا زَاغَ ٱلۡبَصَرُ وَمَا طَغَىٰ

Amaaso (ga Nabbi) tegawuguka wadde okusukka ekyo (kye yali ateekwa okulaba). info
التفاسير: |

18 : 53

لَقَدۡ رَأَىٰ مِنۡ ءَايَٰتِ رَبِّهِ ٱلۡكُبۡرَىٰٓ

Mazima yalaba mu bya magero ebya Mukama omulabirizi we ebinene. info
التفاسير: |

19 : 53

أَفَرَءَيۡتُمُ ٱللَّٰتَ وَٱلۡعُزَّىٰ

Abaffe mulaba Latta ne Uzza. info
التفاسير: |

20 : 53

وَمَنَوٰةَ ٱلثَّالِثَةَ ٱلۡأُخۡرَىٰٓ

Ne Mannaata ekibumbe ekirala ekyokusatu (bibumbe byali bisinzibwa nga Nabbi tannatumwa). info
التفاسير: |

21 : 53

أَلَكُمُ ٱلذَّكَرُ وَلَهُ ٱلۡأُنثَىٰ

Abaffe mmwe muzaala abalenzi yye nazaala bawala! (mwe bemutayagala newakubadde abalenzi na bawala ku Katonda kyekimu). info
التفاسير: |

22 : 53

تِلۡكَ إِذٗا قِسۡمَةٞ ضِيزَىٰٓ

Bwekiba bwekityo eyo ngabanya ejjudde kyekubiira. info
التفاسير: |

23 : 53

إِنۡ هِيَ إِلَّآ أَسۡمَآءٞ سَمَّيۡتُمُوهَآ أَنتُمۡ وَءَابَآؤُكُم مَّآ أَنزَلَ ٱللَّهُ بِهَا مِن سُلۡطَٰنٍۚ إِن يَتَّبِعُونَ إِلَّا ٱلظَّنَّ وَمَا تَهۡوَى ٱلۡأَنفُسُۖ وَلَقَدۡ جَآءَهُم مِّن رَّبِّهِمُ ٱلۡهُدَىٰٓ

(Bye musinza) tebirina kyebiri okugyako okuba amannya gemwetuumira mmwe ne bakadde ba mmwe, Katonda tabissangako bujulizi bwonna (era ababisinza) tebalina kye bagoberera okugyako okuteebereza nokugoberera ebyo emyoyo gyabwe bye jaagala, so nga ate obulungamu bwabajjira nga buva ewa Mukama omulabirizi waabwe. info
التفاسير: |

24 : 53

أَمۡ لِلۡإِنسَٰنِ مَا تَمَنَّىٰ

Oba kiri nti omuntu asobola okufuna ekyo kye yeegomba (atuuke okwesalirawo okusinza ebibumbe ate naaba nga tavunaanwa). info
التفاسير: |

25 : 53

فَلِلَّهِ ٱلۡأٓخِرَةُ وَٱلۡأُولَىٰ

Wabula nno enkomerero ne ntandikwa bya Katonda yekka (n’olwekyo yekka yaasalawo). info
التفاسير: |

26 : 53

۞ وَكَم مِّن مَّلَكٖ فِي ٱلسَّمَٰوَٰتِ لَا تُغۡنِي شَفَٰعَتُهُمۡ شَيۡـًٔا إِلَّا مِنۢ بَعۡدِ أَن يَأۡذَنَ ٱللَّهُ لِمَن يَشَآءُ وَيَرۡضَىٰٓ

Era ba Malayika bameka abali mu ggulu omusanvu nga okuwolereza kwabwe tekugenda kugasa kintu kyonna okugyako oluvanyuma lwa Katonda okukkiriza gwaliba ayagadde era nasiima. info
التفاسير: |
next

Najmu

prev
:
0:00 0:00