Check out the new design

Translation of the Meanings of the Noble Qur'an - Luganda translation - African Development Foundation * - Translations’ Index


Translation of the meanings Surah: Saba’   Ayah:
أَفۡتَرَىٰ عَلَى ٱللَّهِ كَذِبًا أَم بِهِۦ جِنَّةُۢۗ بَلِ ٱلَّذِينَ لَا يُؤۡمِنُونَ بِٱلۡأٓخِرَةِ فِي ٱلۡعَذَابِ وَٱلضَّلَٰلِ ٱلۡبَعِيدِ
8 . Abaffe (okwogera bwatyo) atemeredde bulimba ku Katonda oba agudde eddalu, wabula abo abatakkiriza nkomerero bali mu bibonerezo na bubuze obw'ewala.
Arabic explanations of the Qur’an:
أَفَلَمۡ يَرَوۡاْ إِلَىٰ مَا بَيۡنَ أَيۡدِيهِمۡ وَمَا خَلۡفَهُم مِّنَ ٱلسَّمَآءِ وَٱلۡأَرۡضِۚ إِن نَّشَأۡ نَخۡسِفۡ بِهِمُ ٱلۡأَرۡضَ أَوۡ نُسۡقِطۡ عَلَيۡهِمۡ كِسَفٗا مِّنَ ٱلسَّمَآءِۚ إِنَّ فِي ذَٰلِكَ لَأٓيَةٗ لِّكُلِّ عَبۡدٖ مُّنِيبٖ
9 . Abaffe tebalaba ebyo ebiri mu maaso gaabwe n'ebyo ebiri emabega waabwe ebiri ku ggulu ne ku nsi, singa twagadde tuyinza okubamizisa ensi oba netubasuulako ekibajjo okuva waggulu, mazima mu ebyo mulimu akabonero (eky'okuyiga) eri buli muddu eyeenenyeza Katonda we.
Arabic explanations of the Qur’an:
۞ وَلَقَدۡ ءَاتَيۡنَا دَاوُۥدَ مِنَّا فَضۡلٗاۖ يَٰجِبَالُ أَوِّبِي مَعَهُۥ وَٱلطَّيۡرَۖ وَأَلَنَّا لَهُ ٱلۡحَدِيدَ
10 . Mazima twawa Dauda ebirungi okuva gye tuli, (nga bwe twagamba nti) abange mmwe nsozi mutendereze wamu naye nammwe ebinyonyi mukole bwe mutyo, era twamugondeza ekyuma.
Arabic explanations of the Qur’an:
أَنِ ٱعۡمَلۡ سَٰبِغَٰتٖ وَقَدِّرۡ فِي ٱلسَّرۡدِۖ وَٱعۡمَلُواْ صَٰلِحًاۖ إِنِّي بِمَا تَعۡمَلُونَ بَصِيرٞ
11 . (Netumugamba nti) kola ebyambalo by'olutalo, amakowe gakole nga genkana, era mukole emirimu emirungi mazima nze ndabira ddala ebyo bye mukola.
Arabic explanations of the Qur’an:
وَلِسُلَيۡمَٰنَ ٱلرِّيحَ غُدُوُّهَا شَهۡرٞ وَرَوَاحُهَا شَهۡرٞۖ وَأَسَلۡنَا لَهُۥ عَيۡنَ ٱلۡقِطۡرِۖ وَمِنَ ٱلۡجِنِّ مَن يَعۡمَلُ بَيۡنَ يَدَيۡهِ بِإِذۡنِ رَبِّهِۦۖ وَمَن يَزِغۡ مِنۡهُمۡ عَنۡ أَمۡرِنَا نُذِقۡهُ مِنۡ عَذَابِ ٱلسَّعِيرِ
12 . Ate Sulaiman twamugondeza empewo nga ekitundu kyetambula okuva kumakya okutuuka mu ttuntu kyanditambuliddwa mwezi, nga n'ekitundu kyetambula olw'eggulo kyalitambuliddwa mwezi, era twamukulukusiza ensulo z’ekikomo nga ne mu Majinni mulimu agaali mu buyinza bwe agamukolera byonna ku lw'ekiragiro kya Mukama Omulabiriziwe, ejinni lyonna eribula neriva ku kiragiro kyaffe tulikombesa ku bibonerezo ebyo muliro Sa-iri.
Arabic explanations of the Qur’an:
يَعۡمَلُونَ لَهُۥ مَا يَشَآءُ مِن مَّحَٰرِيبَ وَتَمَٰثِيلَ وَجِفَانٖ كَٱلۡجَوَابِ وَقُدُورٖ رَّاسِيَٰتٍۚ ٱعۡمَلُوٓاْ ءَالَ دَاوُۥدَ شُكۡرٗاۚ وَقَلِيلٞ مِّنۡ عِبَادِيَ ٱلشَّكُورُ
13 . N'olwekyo nga gamukolera byonna byayagala nga ebifo ebisinzibwamu n'ebifaananyi, ebibumbe ne nsiniya ennene eziringa ebidiba, n'amaseppiki (amanene ennyo) agatava mu kifo, (netumugamba nti) abange abantu ba Dauda mukole olw'okwebaza (Katonda), wabula batono abeebaza mu baddu bange.
Arabic explanations of the Qur’an:
فَلَمَّا قَضَيۡنَا عَلَيۡهِ ٱلۡمَوۡتَ مَا دَلَّهُمۡ عَلَىٰ مَوۡتِهِۦٓ إِلَّا دَآبَّةُ ٱلۡأَرۡضِ تَأۡكُلُ مِنسَأَتَهُۥۖ فَلَمَّا خَرَّ تَبَيَّنَتِ ٱلۡجِنُّ أَن لَّوۡ كَانُواْ يَعۡلَمُونَ ٱلۡغَيۡبَ مَا لَبِثُواْ فِي ٱلۡعَذَابِ ٱلۡمُهِينِ
14 . Bwe twamutuusaako okufa tewali kyagalaga kufa kwe okugyako ebiwuka by’omuttaka (enkuyege) ezaalya omuggo gwe gwe yatambula nga nagwo) olwo nno bwe yagwa amajinni gaakakasa nti singa gaali gamanyi ebyekusifu tegandibadde mu bibonyoobonyo ebinyoomesa.
Arabic explanations of the Qur’an:
 
Translation of the meanings Surah: Saba’
Surahs’ Index Page Number
 
Translation of the Meanings of the Noble Qur'an - Luganda translation - African Development Foundation - Translations’ Index

Issued by African Development Foundation

close