Check out the new design

Translation of the Meanings of the Noble Qur'an - Luganda translation - African Development Foundation * - Translations’ Index


Translation of the meanings Surah: Saba’   Ayah:
لَقَدۡ كَانَ لِسَبَإٖ فِي مَسۡكَنِهِمۡ ءَايَةٞۖ جَنَّتَانِ عَن يَمِينٖ وَشِمَالٖۖ كُلُواْ مِن رِّزۡقِ رَبِّكُمۡ وَٱشۡكُرُواْ لَهُۥۚ بَلۡدَةٞ طَيِّبَةٞ وَرَبٌّ غَفُورٞ
15 . Mazima abantu be Saba-i mu kitundu kyabwe baalinamu eky'okuyiga (nakyo baalina) ennimiro bbiri ku ddyo ne ku kkono (netubagamba nti) mulye mu bigabwa bya Mukama omulabirizi wa mmwe era mumwebaze, (nga kino kye yabawa) kitundu kya nsi kirungi, ne Katonda mulabirizi musonyiyi.
Arabic explanations of the Qur’an:
فَأَعۡرَضُواْ فَأَرۡسَلۡنَا عَلَيۡهِمۡ سَيۡلَ ٱلۡعَرِمِ وَبَدَّلۡنَٰهُم بِجَنَّتَيۡهِمۡ جَنَّتَيۡنِ ذَوَاتَيۡ أُكُلٍ خَمۡطٖ وَأَثۡلٖ وَشَيۡءٖ مِّن سِدۡرٖ قَلِيلٖ
16 . Baava ku kyabalagirwa netubasindikira mukoka omuyitirivu (eyawaguza zi daamu (amabibiro g'amazzi) essamba nezijjula amazzi), olwo nno nnimiro zaabwe netubawaanyisizaamu ennimiro endala bbiri ezijjudde ebyokulya ebikaawa n’emiti egitabala n’emiti gya Sidiri mitono tono.
Arabic explanations of the Qur’an:
ذَٰلِكَ جَزَيۡنَٰهُم بِمَا كَفَرُواْۖ وَهَلۡ نُجَٰزِيٓ إِلَّا ٱلۡكَفُورَ
17 . Ekyo kye twabasasula olw'obukaafiiri bwa bwe, ye ate tubonereza mu kusasula okw'ekyenkanyi mu ngeri eno okugyako abakaafiiri.
Arabic explanations of the Qur’an:
وَجَعَلۡنَا بَيۡنَهُمۡ وَبَيۡنَ ٱلۡقُرَى ٱلَّتِي بَٰرَكۡنَا فِيهَا قُرٗى ظَٰهِرَةٗ وَقَدَّرۡنَا فِيهَا ٱلسَّيۡرَۖ سِيرُواْ فِيهَا لَيَالِيَ وَأَيَّامًا ءَامِنِينَ
18 . Netussa wakati waabwe ne wakati w’ebitundu ebyo bye twawa omukisa ebitundu ebirala nga bikwataganye (era nga bisoboka okuwummulirwamu) okubitambuliramu netukifuula kyangu (kale) mutambule mu byo ebiro n’emisana nga muli mirembe.
Arabic explanations of the Qur’an:
فَقَالُواْ رَبَّنَا بَٰعِدۡ بَيۡنَ أَسۡفَارِنَا وَظَلَمُوٓاْ أَنفُسَهُمۡ فَجَعَلۡنَٰهُمۡ أَحَادِيثَ وَمَزَّقۡنَٰهُمۡ كُلَّ مُمَزَّقٍۚ إِنَّ فِي ذَٰلِكَ لَأٓيَٰتٖ لِّكُلِّ صَبَّارٖ شَكُورٖ
19 . Olwo nno (mu kifo ky'okwebaza) ne bagamba nti ayi Mukama omulabirizi waffe, ssa amabanga manene (okutuuka wetusobola okuwummulira) mu ngendo zaffe. Mu kukola ekyo nebaba nga beelyazaamaanya bokka, olwo nno netubafuula eky'okwogerako era netubayuzaayuza oluyuzaayuza. Mazima mu ekyo mulimu eby'okuyiga eri buli mugumiikiriza owa nnamaddala eyeebaza ennyo.
Arabic explanations of the Qur’an:
وَلَقَدۡ صَدَّقَ عَلَيۡهِمۡ إِبۡلِيسُ ظَنَّهُۥ فَٱتَّبَعُوهُ إِلَّا فَرِيقٗا مِّنَ ٱلۡمُؤۡمِنِينَ
20 . Mazima Ibuliisu yatuukiriza endowooza ye nga akozesa bbo, olwo nno ne bamugoberera okugyako ekitundu ku bakkiriza.
Arabic explanations of the Qur’an:
وَمَا كَانَ لَهُۥ عَلَيۡهِم مِّن سُلۡطَٰنٍ إِلَّا لِنَعۡلَمَ مَن يُؤۡمِنُ بِٱلۡأٓخِرَةِ مِمَّنۡ هُوَ مِنۡهَا فِي شَكّٖۗ وَرَبُّكَ عَلَىٰ كُلِّ شَيۡءٍ حَفِيظٞ
21 . Tabangako na buyinza ku bo wabula (ekimufunyisa abagoberezi) lwakuba twagala tumanye oyo akkiriza olunaku lw’enkomerero nga tumwawula ku oyo alulinamu okubuusabuusa, bulijjo Mukama omulabirizi wo mulondoozi wa buli kintu.
Arabic explanations of the Qur’an:
قُلِ ٱدۡعُواْ ٱلَّذِينَ زَعَمۡتُم مِّن دُونِ ٱللَّهِ لَا يَمۡلِكُونَ مِثۡقَالَ ذَرَّةٖ فِي ٱلسَّمَٰوَٰتِ وَلَا فِي ٱلۡأَرۡضِ وَمَا لَهُمۡ فِيهِمَا مِن شِرۡكٖ وَمَا لَهُۥ مِنۡهُم مِّن ظَهِيرٖ
22 . Bagambe (gwe Nabbi Muhammad) musabe abo bemugamba nemuva ku Katonda, (wabula mukimanye nti) tebafuga kantu kenkana kanyinkuli mu ggulu omusanvu wadde mu nsi, era tebalina mugabo mu byombi era (Katonda) talina muyambi yenna ava mu bo wadde ava mu balala.
Arabic explanations of the Qur’an:
 
Translation of the meanings Surah: Saba’
Surahs’ Index Page Number
 
Translation of the Meanings of the Noble Qur'an - Luganda translation - African Development Foundation - Translations’ Index

Issued by African Development Foundation

close