Check out the new design

Translation of the Meanings of the Noble Qur'an - Luganda translation - African Development Foundation * - Translations’ Index


Translation of the meanings Surah: Saba’   Ayah:
قَالَ ٱلَّذِينَ ٱسۡتَكۡبَرُواْ لِلَّذِينَ ٱسۡتُضۡعِفُوٓاْ أَنَحۡنُ صَدَدۡنَٰكُمۡ عَنِ ٱلۡهُدَىٰ بَعۡدَ إِذۡ جَآءَكُمۖ بَلۡ كُنتُم مُّجۡرِمِينَ
32 . Abo abaatwalibwanga okuba aba waggulu baligamba abo abaatwalibwanga okuba aba wansi nti: abaffe, ffe twabalemesa obulungamu bwe bwali nga bubajjidde (si bwe guli) wabula mwali bantu aboonoonyi.
Arabic explanations of the Qur’an:
وَقَالَ ٱلَّذِينَ ٱسۡتُضۡعِفُواْ لِلَّذِينَ ٱسۡتَكۡبَرُواْ بَلۡ مَكۡرُ ٱلَّيۡلِ وَٱلنَّهَارِ إِذۡ تَأۡمُرُونَنَآ أَن نَّكۡفُرَ بِٱللَّهِ وَنَجۡعَلَ لَهُۥٓ أَندَادٗاۚ وَأَسَرُّواْ ٱلنَّدَامَةَ لَمَّا رَأَوُاْ ٱلۡعَذَابَۚ وَجَعَلۡنَا ٱلۡأَغۡلَٰلَ فِيٓ أَعۡنَاقِ ٱلَّذِينَ كَفَرُواْۖ هَلۡ يُجۡزَوۡنَ إِلَّا مَا كَانُواْ يَعۡمَلُونَ
33 . N'abo abaatwalibwanga okuba aba wansi baligamba abo abeetwalanga okuba aba waggulu nti (si bwe kiri), wabula ezo zaali nkwe ze mwasalanga ekiro n’emisana bwe mwatulagiranga tujeemere Katonda netumussaako ba katonda abalala, olwo nno balikweka munda okwejjusa kebaliraba ebibonerezo era tugenda kussa enjegere mu nsingo zaabo abaakaafuwala, ye ate balisasulwa okugyako ebyo bye baakola.
Arabic explanations of the Qur’an:
وَمَآ أَرۡسَلۡنَا فِي قَرۡيَةٖ مِّن نَّذِيرٍ إِلَّا قَالَ مُتۡرَفُوهَآ إِنَّا بِمَآ أُرۡسِلۡتُم بِهِۦ كَٰفِرُونَ
34 . Era tetutumanga mu kitundu kyonna mutiisa okugyako nga abawangaala obulamu obw'okwejalabya nga bagamba nti mazima ffe tuwakanya ebyo bye mutumiddwa nabyo.
Arabic explanations of the Qur’an:
وَقَالُواْ نَحۡنُ أَكۡثَرُ أَمۡوَٰلٗا وَأَوۡلَٰدٗا وَمَا نَحۡنُ بِمُعَذَّبِينَ
35 . Era ne bagamba nti ffe tusinga (mmwe) emmaali n’abaana era ffe tetugenda kubonerezebwa.
Arabic explanations of the Qur’an:
قُلۡ إِنَّ رَبِّي يَبۡسُطُ ٱلرِّزۡقَ لِمَن يَشَآءُ وَيَقۡدِرُ وَلَٰكِنَّ أَكۡثَرَ ٱلنَّاسِ لَا يَعۡلَمُونَ
36 . Bagambe (ggwe Nabbi Muhammad nti) mazima Mukama omulabirizi wange ayanjuluriza eby'enfuna oyo gwaba ayagadde ate n’abifundiza gwaba ayagadde, naye ddala abantu abasinga obungi tebamanyi.
Arabic explanations of the Qur’an:
وَمَآ أَمۡوَٰلُكُمۡ وَلَآ أَوۡلَٰدُكُم بِٱلَّتِي تُقَرِّبُكُمۡ عِندَنَا زُلۡفَىٰٓ إِلَّا مَنۡ ءَامَنَ وَعَمِلَ صَٰلِحٗا فَأُوْلَٰٓئِكَ لَهُمۡ جَزَآءُ ٱلضِّعۡفِ بِمَا عَمِلُواْ وَهُمۡ فِي ٱلۡغُرُفَٰتِ ءَامِنُونَ
37 . Era emmaali ya mmwe n’abaana ba mmwe si bye biyamba okusembera gye tuli okugyako (ekiyamba) ye muntu akkiriza naakola emirimu emirungi. Abo nno balifuna empeera enkubiseemu olw'ebyo bye baakola era bagenda kutuula ntende mu nyumba ensitufu.
Arabic explanations of the Qur’an:
وَٱلَّذِينَ يَسۡعَوۡنَ فِيٓ ءَايَٰتِنَا مُعَٰجِزِينَ أُوْلَٰٓئِكَ فِي ٱلۡعَذَابِ مُحۡضَرُونَ
38 . N'abo abassa amaanyi mu kulemesa ebigambo byaffe bagenda kuleetebwa eri bibonerezo
Arabic explanations of the Qur’an:
قُلۡ إِنَّ رَبِّي يَبۡسُطُ ٱلرِّزۡقَ لِمَن يَشَآءُ مِنۡ عِبَادِهِۦ وَيَقۡدِرُ لَهُۥۚ وَمَآ أَنفَقۡتُم مِّن شَيۡءٖ فَهُوَ يُخۡلِفُهُۥۖ وَهُوَ خَيۡرُ ٱلرَّٰزِقِينَ
39 . Bagambe nti mazima Mukama omulabirizi wange ayanjuluza riziki eri oyo gwaba ayagadde mu baddu be ate naagifundiza (gwaba ayagadde), nabuli kintu kyonna kye muwaayo mazima yye akizzaawo era bulijjo yye yaasinga abagabirizi.
Arabic explanations of the Qur’an:
 
Translation of the meanings Surah: Saba’
Surahs’ Index Page Number
 
Translation of the Meanings of the Noble Qur'an - Luganda translation - African Development Foundation - Translations’ Index

Issued by African Development Foundation

close