next

An – Naziaat

prev

external-link copy
1 : 79

وَٱلنَّٰزِعَٰتِ غَرۡقٗا

Ndayira Malayika ezisikambula emyoyo j’abajeemu mu bukambwe (mukiseera kyokufa). info
التفاسير: |

external-link copy
2 : 79

وَٱلنَّٰشِطَٰتِ نَشۡطٗا

Era ndayira Malayika ezisowola mumpola emyoyo jabakkiriza Allah nomubaka we olusowola olwangu. info
التفاسير: |

external-link copy
3 : 79

وَٱلسَّٰبِحَٰتِ سَبۡحٗا

Era ndayira Malayika eziwugira mu bbanga oluwuga. info
التفاسير: |

external-link copy
4 : 79

فَٱلسَّٰبِقَٰتِ سَبۡقٗا

Era ndayira Malayika ezivuganya oluvuganya mukuteka munkola Allah byaaba alagidde. info
التفاسير: |

external-link copy
5 : 79

فَٱلۡمُدَبِّرَٰتِ أَمۡرٗا

Ne ndayira ne Malayika ezissa mu nkola ebiragiro Byange info
التفاسير: |

external-link copy
6 : 79

يَوۡمَ تَرۡجُفُ ٱلرَّاجِفَةُ

Mukimanye nti ebitonde byonna bigenda kuzikirira ku lunaku buli kintu kyonna lwe kirikankanyizibwa musisi nga engombe efuuyiddwa. info
التفاسير: |

external-link copy
7 : 79

تَتۡبَعُهَا ٱلرَّادِفَةُ

Oluvanyuma luligobererwa olufuuwa olw'okubiri (olw'okuzuukira). info
التفاسير: |

external-link copy
8 : 79

قُلُوبٞ يَوۡمَئِذٖ وَاجِفَةٌ

Emitima j’abatakkiriza Allah n'omubaka we ku lunaku olwo jiribeera mu kutya. info
التفاسير: |

external-link copy
9 : 79

أَبۡصَٰرُهَا خَٰشِعَةٞ

Amaaso gaabwe nga makkakkamu olwokutya. info
التفاسير: |

external-link copy
10 : 79

يَقُولُونَ أَءِنَّا لَمَرۡدُودُونَ فِي ٱلۡحَافِرَةِ

Bagamba (nga bajerega), nti "Mazima ddala tuliddizibwawo mu bulamu oluvanyuma lwokufa nga bwetulimu kati?" info
التفاسير: |

external-link copy
11 : 79

أَءِذَا كُنَّا عِظَٰمٗا نَّخِرَةٗ

Bwe tuliba tumaze okufuuka amagumba amamerengufu? info
التفاسير: |

external-link copy
12 : 79

قَالُواْ تِلۡكَ إِذٗا كَرَّةٌ خَاسِرَةٞ

Bongerako ne bagamba nti (ekyonno bwekiriba bwekityo) kuliba kudda kwa kufaafaaganirwa. info
التفاسير: |

external-link copy
13 : 79

فَإِنَّمَا هِيَ زَجۡرَةٞ وَٰحِدَةٞ

Mazima okuzuukira lugenda kubeera olukanga lumu lwokka (olufuuwa lwengombe lumu) info
التفاسير: |

external-link copy
14 : 79

فَإِذَا هُم بِٱلسَّاهِرَةِ

Baligenda okulaba abantu bonna nga bali kungulu kunsi. info
التفاسير: |

external-link copy
15 : 79

هَلۡ أَتَىٰكَ حَدِيثُ مُوسَىٰٓ

Abaffe wamanyako ku kyafaayo kya Nabbi Musa? info
التفاسير: |

external-link copy
16 : 79

إِذۡ نَادَىٰهُ رَبُّهُۥ بِٱلۡوَادِ ٱلۡمُقَدَّسِ طُوًى

Mukiseera Katonda weyakoowoolera Musa nga (Musa) ali mu lusenyi olutukuvu 'Tuwa'? info
التفاسير: |
next

An – Naziaat

prev