next

AL-Mur salaat

prev

1 : 77

وَٱلۡمُرۡسَلَٰتِ عُرۡفٗا

Ndayidde empewo ekunta mu ngeri y'okugoberegana. info
التفاسير: |

2 : 77

فَٱلۡعَٰصِفَٰتِ عَصۡفٗا

Era ndayidde kibuyaga akunta mu ngeri ey'amaanyi eyakabenje. info
التفاسير: |

3 : 77

وَٱلنَّٰشِرَٰتِ نَشۡرٗا

Era ndayidde Malayika ezitambuza ebire olutambuza (olwokutonyesa enkuba). info
التفاسير: |

4 : 77

فَٱلۡفَٰرِقَٰتِ فَرۡقٗا

Era ndayidde Malayika ezikka okuva muggulu nga zireeta ebyawula wakati w'amazima n'obulimba. info
التفاسير: |

5 : 77

فَٱلۡمُلۡقِيَٰتِ ذِكۡرًا

Era ndayidde Malayika ezireeta ebitabo n'obubaka eri ba Nabbi ba Allah nga byakujjukiza. info
التفاسير: |

6 : 77

عُذۡرًا أَوۡ نُذۡرًا

Mu ngeri yokuba nti bijjawo ebyokwekwaasa oba nga byakutiisa. info
التفاسير: |

7 : 77

إِنَّمَا تُوعَدُونَ لَوَٰقِعٞ

Mazima bye mulaganyisibwa ebikwata ku lunaku lw'enkomerero n'okusasulwa bya kubaawo. info
التفاسير: |

8 : 77

فَإِذَا ٱلنُّجُومُ طُمِسَتۡ

Emunyeenye lwezirijjibwawo (newataba kitangaala kyaazo). info
التفاسير: |

9 : 77

وَإِذَا ٱلسَّمَآءُ فُرِجَتۡ

Era eggulu bweririwumulwa (nerirabika nga emiryango). info
التفاسير: |

10 : 77

وَإِذَا ٱلۡجِبَالُ نُسِفَتۡ

Era ensozi bwezirimerengulwa. info
التفاسير: |

11 : 77

وَإِذَا ٱلرُّسُلُ أُقِّتَتۡ

Era ababaka ba Allah bwebaliweebwa akadde k'okuwa obujulizi kwabo bebaatumwamu. info
التفاسير: |

12 : 77

لِأَيِّ يَوۡمٍ أُجِّلَتۡ

Kulunaku olwakeleyezebwa bawe obujulizi kubibiina byabwe. info
التفاسير: |

13 : 77

لِيَوۡمِ ٱلۡفَصۡلِ

Bigenda kubaawo ku lunaku olwokusalawo n'okulamula wakati w'ebitonde. info
التفاسير: |

14 : 77

وَمَآ أَدۡرَىٰكَ مَا يَوۡمُ ٱلۡفَصۡلِ

Abaffe omanyi olunaku lw'okusalawo kyekki!. info
التفاسير: |

15 : 77

وَيۡلٞ يَوۡمَئِذٖ لِّلۡمُكَذِّبِينَ

Ku lunaku olwo okubonaabona kugenda kubeera kw'abo abalulimbisa. info
التفاسير: |

16 : 77

أَلَمۡ نُهۡلِكِ ٱلۡأَوَّلِينَ

Abaffe tetwazikiriza ababasokawo. info
التفاسير: |

17 : 77

ثُمَّ نُتۡبِعُهُمُ ٱلۡأٓخِرِينَ

Netubagoberezaako abalala. info
التفاسير: |

18 : 77

كَذَٰلِكَ نَفۡعَلُ بِٱلۡمُجۡرِمِينَ

Bwetutyo nno bwetukola mu kubonereza abonoonyi. info
التفاسير: |

19 : 77

وَيۡلٞ يَوۡمَئِذٖ لِّلۡمُكَذِّبِينَ

Ku lunaku olwo okubonaabona kugenda kubeera kw'abo abalimbisa. info
التفاسير: |
next

AL-Mur salaat

prev
:
0:00 0:00