《古兰经》译解 - 卢干达语翻译 - 非洲发展机构 * - 译解目录


含义的翻译 章: 塔拉格   段:

Al-Alak

ٱقۡرَأۡ بِٱسۡمِ رَبِّكَ ٱلَّذِي خَلَقَ
1. Soma ng'otandika ne linnya lya mukamawo oyo eyatonda (buli kintu).
阿拉伯语经注:
خَلَقَ ٱلۡإِنسَٰنَ مِنۡ عَلَقٍ
2. Yatonda omuntu nga amuggya mu kisaayisaayi.
阿拉伯语经注:
ٱقۡرَأۡ وَرَبُّكَ ٱلۡأَكۡرَمُ
3. Soma, kuba Omulezi wo (Katonda) ye mugabi asinga.
阿拉伯语经注:
ٱلَّذِي عَلَّمَ بِٱلۡقَلَمِ
4. Oyo eyayigiriza omuntu okuwandiika n'ekkalaamu.
阿拉伯语经注:
عَلَّمَ ٱلۡإِنسَٰنَ مَا لَمۡ يَعۡلَمۡ
5. Yayigiriza omuntu ebyo (omuntu) bye yali tamanyi.
阿拉伯语经注:
كَلَّآ إِنَّ ٱلۡإِنسَٰنَ لَيَطۡغَىٰٓ
6. Nedda, mazima omuntu agenda neyewaggula.
阿拉伯语经注:
أَن رَّءَاهُ ٱسۡتَغۡنَىٰٓ
7. Olw’okweraba nti yeemalirira (olw’ebyo by’aba alina).
阿拉伯语经注:
إِنَّ إِلَىٰ رَبِّكَ ٱلرُّجۡعَىٰٓ
8. Ng’ate Mazima ddala eri Omuleziwo (Katonda) y’eri obuddo.
阿拉伯语经注:
أَرَءَيۡتَ ٱلَّذِي يَنۡهَىٰ
9. Olabye omuntu agaana.
阿拉伯语经注:
عَبۡدًا إِذَا صَلَّىٰٓ
10. (Agaana) omuddu wa Katonda bw’aba ng'asaala.
阿拉伯语经注:
أَرَءَيۡتَ إِن كَانَ عَلَى ٱلۡهُدَىٰٓ
11. Tolaba nti gwebagaana ky'akola kya bulungamu!
阿拉伯语经注:
أَوۡ أَمَرَ بِٱلتَّقۡوَىٰٓ
12. Oba bwaba alagidde abantu okutya Katonda.
阿拉伯语经注:
أَرَءَيۡتَ إِن كَذَّبَ وَتَوَلَّىٰٓ
13. Olaba oyo (agaana asaala) bw'alimbisa n'akyuka okuva ku mazima.
阿拉伯语经注:
أَلَمۡ يَعۡلَم بِأَنَّ ٱللَّهَ يَرَىٰ
14. Abaffe tamanyi (oyo alimbisa) nti Mazima Katonda alaba ebyo (by’akola).
阿拉伯语经注:
كَلَّا لَئِن لَّمۡ يَنتَهِ لَنَسۡفَعَۢا بِٱلنَّاصِيَةِ
15. Nedda bw’anaaba teyeekomyeko (ku bikolwa ebyo) tujja kumuwalula nga tumukutte ku kawompo.
阿拉伯语经注:
نَاصِيَةٖ كَٰذِبَةٍ خَاطِئَةٖ
16. Akawompo ako akajjudde obulimba n’obusobya.
阿拉伯语经注:
فَلۡيَدۡعُ نَادِيَهُۥ
17. Kale ayitanga abali mu kinywi kye (eky’obujeemu bamutaase).
阿拉伯语经注:
سَنَدۡعُ ٱلزَّبَانِيَةَ
18. Naffe tujja kukoowoola ba Malayika abakambwe abakuumi b’omuliro (abatuusa ebibonerezo ku bajeemu).
阿拉伯语经注:
كَلَّا لَا تُطِعۡهُ وَٱسۡجُدۡۤ وَٱقۡتَرِب۩
19. Nedda (Owange Nabbi Muhammad) togonderanga omuntu ng’oyo. Vunnama (ng'osinza) Katonda era weeyongere okusembera gy'ali.
阿拉伯语经注:
 
含义的翻译 章: 塔拉格
章节目录 页码
 
《古兰经》译解 - 卢干达语翻译 - 非洲发展机构 - 译解目录

古兰经卢干达语译解,非洲发展机构团队翻译。

关闭